TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Kyambogo ne Kampala University bali ku fayinolo

Kyambogo ne Kampala University bali ku fayinolo

By Musasi wa Bukedde

Added 8th November 2018

Yunivasite y'e Kyambogo n'eya Kampala University buli emu ewera kusitukira mu kikopo kya Pepsi University Football League.

Captainsweb 703x422

Kapiteeni wa Kyambogo, Racmac Ashaba (ku kkono) n'owa KU, John Aleper nga basitudde ekikopo.

Bya DRAKE SSENTONGO

Fayinolo ya liigi ya yunivasite (Lwamukaaga)

Kyambogo ne KU, Ssaawa 09:00

DEO Sserwadda, atendeka yunivasite y’e  Kyambogo) ne maneja wa Kampala University, Vincent Tumusiime, bawera okufaafaagana ku fayinolo ya liigi yaabwe eya Pepsi University Football League, ku Lwomukaaga e Namboole.

"Omupiira  tugwetegekedde era ttiimu eneesinga obulungi y'ejja okutwala obuwanguzi," Sserwadda bwe yagambye.  Kyambogo tewangulanga ku kikopo kino bukya empaka lwe zaatandika mu 2012.   

 eo serwadda atendeka yunivasite ye yambogo Deo Sserwadda, atendeka yunivasite y'e Kyambogo

 

Ye Tumusiime yaweze ng’abazannyi be bwe bagenda okuzannya ogw’okufiirawo bawangule ekikopo omulundi ogw’okusatu.

"Banaffe aba Kyambogo tubawa ekitiibwa, naye tugenda kubalaga omupiira ogw'ekika ekya waggulu," Tumusiime bwe yategeezezza.  KU yakiwangula mu 2013 ne 2016.

 incent umusiime atendeka ampala niversity Vincent Tumusiime, atendeka Kampala University

 

Okutuuka ku fayinolo, KU yawangudde St.Lawrence  ggoolo (6-5) eza peneti, oluvannyuma lw'okugwa amaliri (omugatte 3-3), sso nga  Kyambogo yawandulamu Bugema ku mugatte gwa ggoolo (3-0).  

 Omuwanguzi waakuweebwa 4,000,000/ ate owookubiri 3,000,000/-. 

 Abazze bawangula;

2012 Makerere

2013 KU

2014 MUBS

2015 MUBS

2016 KU

2017 Nkozi

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bug1 220x290

Paasita Bugembe naye endiga ze...

Paasita Bugembe naye endiga ze tazisuuliridde

Kag1 220x290

Ekizibu kya corona kisaza abantu...

Ekizibu kya corona kisaza abantu entotto

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’