TOP

Conte atwala Chelsea mu kkooti

By Musasi wa Bukedde

Added 8th November 2018

Ayagala bamuliyirire obukadde bwa pawundi 20 olw'okumugoba ku mulimu.

Conte 703x422

conte

ANTONIO Conte atudde ne looya we era bategeka kutwala Chelsea mu kkooti olw’okulemwa okumuliyirira omusaala gwe nga bwe kyali mu ndagaano eyamuweebwa nga tannagobwa.


Conte, yagobwa ku ntandikibwa ya sizoni eno n’asikizibwa Maurizio Sarri ku butendesi bwa ttiimu eno. Oluvannyuma lwa Conte okussa obukwakkulizo ku Real Madrid eyabadde eyagala okumukansa kati addidde Chelsea, ng’eyagala emuwe ensimbi ez’okumuliyirira olw’okumugoba.

Abanja obukadde bwa pawundi 20 nga ku zino, obukadde 11.3 ze zaali ez’omusaala ezaali zigenda okumusasulwa mu mwaka ogumu ogwali gubula ku ndagaano ye n’obukadde 8.7 olw’okumwonoonera erinnya. Wabula Chelsea yabadde emuyise bakkaanye mu buntu kye yagaanyi era ye ne looya bategese empapula, ezinaawalaawala Chelsea mu mbuga.


Wabula kigambibwa nti Chelsea nayo teyagala kumuliyirira musimbi mungi gutyo, olw’obuvuyo bwe yaleka akoze mu ttiimu ekyagikonzibyamu okuli; eky’obutakwatagana ne Diego Costa eyali ssita wa ttiimu okukkakkana ng’agyabulidde, okutuukanga ekikeerezi mu nkung’aana za bannamawulire n’okupaakinganga obubi mmotoka mu kisaawe gye yatendekeranga ttiimu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Web 220x290

Nnaalongo akubye omwana wa muggya...

OMUKAZI atuze omwana wa muggya we n’amutta poliisi n’emutaasa ku batuuze nga baagala kumugajambula.

Kit2 220x290

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa...

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa e Luzira

Hip2 220x290

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa...

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa e Kayunga

Gat2 220x290

Abagambibwa okutigomya Matugga...

Abagambibwa okutigomya Matugga Poliisi ebakutte

Gata 220x290

Atutte malaaya ku poliisi lwa kumumma...

OMUSAJJA atabuse ne malaaya gwe yaguze okwesanyusaamu n’amutwala ku poliisi oluvannyuma lw’okumulumiriza okumuwa...