TOP

Cranes etandise okwetegekera Cape Verde

By Silvano Kibuuka

Added 11th November 2018

Cranes etandise okwetegekera Cape Verde

Cr1 703x422

Cranes ng'eli mu kutendekebwa e Lugogo

Mu za Afrika nga November 17 e Namboole

Ebisale; 15,000/-, 40,000/- ne 150,000/-

BAPULO ba Cranes beekengedde Cape Verde gye bambalagana nayo nga November 17 ne beeyanjulirawo mu nkambi wadde ng’obudde bwabwe bwabadde tebunnatuuka.

Balwanira kukiika mu mpaka za Afrika ezaakamalirizo ezigenda okubeera e Cameroon omwaka ogujja. Hassan Wasswa, amyuka kapiteeni wa Cranes yagambye nti kino bakikoze lwa bukulu bwa mupiira guno kuba Cape Verde egenda kujja ekimanyi nti okuwangula Cranes, kye kigizza mu kibalo.

Wasswa, Murushid Juuko, Nicholas Wadada ne Joseph Ochaya be baasoose okweyanjula (ku Lwokutaano) okwegatta ku bazannyira awaka (16) babadde batendekebwa e Lugogo. “Cape Verde yafuna emikisa mingi omwayo n’etagikozesa kyokka ogwaffe ogumu ne tugukozesa ekitegeeza nti tetwagiwangula lwa bunafu.

Tulina okukola ennyo kuba kye twagikola omwayo nayo esobola okukitukola singa tetwetegeka bulungi n’okuzannya nga tufiirawo,” Wasswa bwe yategeezezza Ye Sebastien Desabre atendeka ttiimu eno (Cranes) yalaze essanyu bwe yagambye nti yabadde tasuubira bapulo bano kweyanjula mu kaseera kano. “Kirungi nnyo okutandikira mu ggiya era kimpadde amaanyi nti buli muntu ategeera obuvunaanyizibwa bw’omupiira guno,” Desabre bwe yategeezezza.

Omupiira guno Cranes egwagalamu maliri okuyitawo kyokka Desabre yagambye nti abawagizi balinde okucamuka okutuusa ng’omupiira guwedde. BAGENDA KWEGEZAAMU Leero (Ssande) Cranes yakwegezaamu ne Uganda Kobs (ttiimu y’eggwanga eyabatasussa myaka 23) eyeetegekera okukyalira South Sudan ku Lwokusatu nga nabo bali mu zakusunsulamu eza Afrika (Africa U23 Cup of Nations).

TIKITI ZIRI KATALE

Okwewala akanyigo mu nnaku ezisembayo, ku Lwokutaano FUFA yasazeewo okuziteeka ku katale mu bifo eby’enjawulo abawagizi basobole okuzigula ng’obudde bukyali.

Ebifo okuli; FUFA House e Mengo, amaduuka ga Airtel (Lugogo Forest Mall ne Shoprite Entebe Road), City Oil (Kamwokya, Bombo Road ne Bakuli) tikiti wezisangibwa. Ebifo ebirala kuliko; Mukono City Shoppers, Victoria Bar e Kireka, Fuelex Makindye, Vibes Ltd mu Kisekka Market, Elly Ltd mu Kikuubo, Queens Super Market mu Owino, Rift Valley Railways ku Nasser Road, Jokers Hotel e Bweyogerere ne Outlet Super Market ku Freedom City

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Funayo 220x290

Abantu 15,000 basuliridde kusengulwa...

ABATUUZE basoba mu 15,000, abali ku ttaka eririko enkaayana mu munisipaali y’e Njeru e Buikwe emitima gikyabeewanise...

Talingirizakakozibakolanebesasulawebuse 220x290

Gwe ayagala okulekulila omulimu,...

By'olina okutegeka nga tonnalekulira mulimu oleme okwejjusa ng'otuuse mu nsi

Bugingo 220x290

Bugingo bamuyise ku poliisi ne...

PAASITA Aloysius Bugingo avudde ku poliisi ya CPS mu Kampala nga bimusobedde olw’obukwakkulizo poliisi bwe yamutaddeko...

Linda 220x290

Paasita Serebe aleppuka na bbanja...

OMUSUMBA w’Abalokole Bp. Stuart Serebe owa Christian Heritage Church esangibwa e Mbuya yattulukuse entuuyo nga...

Anita 220x290

Bebe Cool aleese amaanyi: Atuusizza...

OMUYIMBI Bebe Cool aleese amaanyi!, Nga yaakamala okutuusa kapyata ekika kya Land Cruiser V.* ZX Model 2019 gy’agamba...