TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Engeri Susan Muwonge gy’alidde engule ya mmotoka z’empaka

Engeri Susan Muwonge gy’alidde engule ya mmotoka z’empaka

By Nicholas Kalyango

Added 12th November 2018

Mu mpaka ezaawedde eggulo e Mbale, Super Lady (musomesa), yawangudde Mbale Rally bwe yavugidde essaawa 01:33:38 n’aweza obubonero 395 olwo n’ayisa Jas Mangat, ataazeetabyemu, ne Ronald Ssebuguzi eyawanduse ku Lwomukaaga.

Suzanmuwonge 703x422

‘Super Lady’ Susan Muwonge ne Edmond Kyeyune amusomera maapu nga bajaganya

Bya NICHOLAS KALYANGO

OLUVANNYUMA lw’emyaka esatu nga tavuga mmotoka za mpaka, ‘Super Lady’ Susan Muwonge alaze abasajja nti si mmere bw’abawanguddeko engule y’eggwanga (NRC) ey’omwaka guno.

Eno engule yaakubiri ng’eyasooka yagitwala mu 2011.

Mu mpaka ezaawedde eggulo e Mbale, Super Lady (musomesa), yawangudde Mbale Rally bwe yavugidde essaawa 01:33:38 n’aweza obubonero 395 olwo n’ayisa Jas Mangat, ataazeetabyemu, ne Ronald Ssebuguzi eyawanduse ku Lwomukaaga.

Mangat yazeebalamye ng’agamba nti waliwo abaamukiikidde ensingo olw’ekibiina ekitwala omuzannyo guno (FMU) okusala ku Ssebuguzi obubonero bwe yafuna mu Pearl Rally olw’obutaba na ttanka empya (FT3 Safety tanks).

Kino kyaggye Ssebuguzi ku ntikko n’asikirwa Mangat.

Ssebuguzi, eyabadde atunuuliddwa okuwangula Mbale Rally, yabadde yaakavugako kiromita nnya mu lukontana olwagguddewo ku Lwomukaaga, mmotoka n’emufaako.

 

Abawagizi be beekanze Super Lady abayisaako Subaru, n’addirirwa Hassan Alwi ssaako Christakis Fitidis olwo abatawagira Ssebuguzi ne batandika okubiibya nga bwe bagamba nti ‘Katonda talya nguzi’. Okuwangula engule ya NRC, Super Lady yabadde yeetaaga kumalira mu kyakutaano ate Alwi ng’alina kuwangula ate asabirire Muwonge aleme kumalako.

EBIYAMBYE SUPER LADY

Amanyi okubala omuzannyo; Okwawukana ku bavuzi abalala, Muwonge yamanya nti alina kwekuumira mu bifo eby’oku mwanjo. Okuva sizoni lwe yatandika talina mpaka z’awangudde kyokka ng’abadde tasukka bifo bina ebisooka. Abavuzi abamu bawanduka lwa kwepima mu sipiidi z’abo be batasobola ekireetera mmotoka zaabwe okufa.

Omukisa; Mu kusooka, Unissan Bakunda eyandimulemesezza engule, mmotoka ye yayonooneka n’asubwa empaka za mirundi esatu. Mu z’e Mbale, emivuyo gya FMU gyamuggyiddemu Mangat ate ne Ssebuguzi n’awanduka.

Bamakanika abalungi; Yakansa muvuzi munne, Fred Wampamba, omu ku basinga okukanika Subaru mu Uganda. Muwonge tawanduseeko mu mpaka. Mmotoka ya Muwonge eno, Omuzambia Mohammad Essa mwe yawangulira engule ya Afrika mu 2012.

Obutayosa mpaka; Tewali mpaka ku kalenda ya sizoni eno Super Lady z’asubiddwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Taata alumirizza bawala be okumukuba...

Taata alumirizza bawala be okumukuba

Tip1 220x290

Sharif Bogere asomesezza abazannyi...

Sharif Bogere asomesezza abazannyi b'e bikonde e Lugogo

Kab2 220x290

Kabushenga bamwongedde ekisanja...

Kabushenga bamwongedde ekisanja ky'okutegeka emisinde gya Kabaka

Fot1 220x290

Dcu etunuzza Weatherhead ebikalu...

Dcu etunuzza Weatherhead ebikalu mu Hockey

Waliyoomutweogulumiramuliisowebuse 220x290

Engeri ez’enjawulo obulumi bw’omutwe...

Manya ekika ky'omutwe ekiranga endwadde ekutawaanya n'eky'okukola nga tonnatuuka mu ddwaaliro okugukkakkanya