TOP
  • Home
  • Ebirala
  • Nkumba yeeddizza ekikopo kya liigi ya volleyball

Nkumba yeeddizza ekikopo kya liigi ya volleyball

By Musasi wa Bukedde

Added 19th November 2018

Nkumba ekyabinuka masejjere oluvannyuma lw'okweddiza ekikopo kya liigi ya volleyball

Nkumbaweb 703x422

Bakyampiyoni ba Nkumba n'ekikopo

 

Ndejje 2-3 NKUMBA (Bakazi)

ESSANYU n’amaziga katono bitte abazannyi ba Nkumba nga beddiza ekikopo kya Aziz Damani National Volley Ball League ku Lwomukaaga,  ku  MTN Arena e Lugogo.

Fayinolo zino zaggulwawo ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde  Nkumba n’ewangula ensisinkano eyasooka ku nzannya 3-0 (25-21,25-14 ne 25-16) wabula mu nsisinkano eyookubiri Ndejje yalemeddeko, ne beenkanya enzannya 2-2. (25-17,25-12,22-25,23-25. Kino kyawalirizza ddiifiri okubongerayo oluzannya lwa bugoba 15, Nkumba n’ewangula (15-11).

Guno gw’abadde mulundi gwakubiri nga Nkumba esisinkana Ndejje ku fayinolo. Baasemba kwesanga mu 2016, Ndejje n’ewangula  enzannya  2-0, ku ssatu ze baali balina okuzannya.

 bazannyi ba dejje nekikopo Abazannyi ba Ndejje n'ekikopo

 

Tony Jakony atendeka Nkumba yatenderezza obumalirivu abazannyi be bwe baayolesezza n’omutima omuwanguzi eby’abasobozesezza okusitukira mu kikopo kya sizoni eno.

Kino kye kikopo kya Nkumba ekyomukaaga bukya liigi eno etandika mu  1999.

Nkumba ne Ndejje zaakukiikirira Uganda mu mpaka za ‘African Women Volleyball Championship’ omwaka ogujja.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Title 220x290

Kayihura bamutaddeko nnatti obutalinnya...

GAVUMENTI ya Amerika eweze eyali omuduumizi wa poliisi, Gen. Edward Kale Kayihura okulinnya ekigere mu ggwanga...

Pala 220x290

Ebya Nagirinya biyingiddemu omukazi...

POLIISI eyongedde okugaziya okunoonyereza kwayo mu kutemula Maria Nagirinya, bwegguddewo fayiro ku mukyala omu...

Rermanamakula 220x290

Rema amalirizza okugula eby’omukolo...

OMUGOLE Rema Namakula akomyewo okuva e Buyindi ne mu Butuluki na ssanyu era agamba tewali ayinza kwekiika mu mukolo...

Img20190831wa0235209984377320145757 220x290

Ebikwata ku kusoma kwa Sebunya...

HAMZAH Sebunya, bba wa Rema omupya yasooka kukuguka mu by’okukebera omusaayi mwe yatikkirwa dipulooma mu November...

Manya 220x290

Omukyala asusse okumpisiza omukka...

SSENGA, Mukyala wange alina omuze gw’okumpisiza omukka ate nga guwunya bubi ddala. Tusula mu muzigo kale bw’akikola...