TOP

Abayizi battunse mu mizannyo

By Henry Nsubuga

Added 20th November 2018

Omumyuka wa RDC w'e Tororo, asabye amasomero okuzimba ebisaawe basobole okutumbula ebitone by'abayizi

Junior1 703x422

Abayizi nga battunka mu misinde

Omumyuka w’omubaka wa Gavumenti e Tororo, Yahaya Were, asabye abakulira okulambula amasomero mu ggwanga okunyinnyitiza omulimu guno okulaba nga gatuukiriza ebisaanyizo.

Were yategeezezza nti mu bisaanidde okutunulwamu kwe kulaba ng’amasomero gonna, aga Gavumenti n’agobwannanyini gabeera n’ebisaawe abayizi mwe balina okuzannyira emizannyo egy’enjawulo, basobole okutumbula ebitone byabwe.

Yabadde  ku lunaku lw'emizannyo lya Global Junior School e Mukono, abayizi mwe baavuganyirizza mu nnyumba zaabwe okuli; Mars, Jupiter, Neptune ne Mercury. Beenyigidde mu mizannyo okuli emisinde, omupiira, dulafuti, n’emirala nga n’abazadde wamu n’abasomesa bagyetabyemu.

 ahaya ere omumyuka womubaka wa avumenti e ororo Yahaya Were, omumyuka w'omubaka wa Gavumenti e Tororo

 

Ate omulambuzi w’amasomero mu munisipaali y’e Mukono, Olivia Bulya yasabye abazadde okuwagira abaana baabwe basobole okutumbula ebitone byabwe.

Bulya yategeezezza nti kya nnaku okulaba ng’eriyo abazadde abatayagala baana kwenyigira mu mizannyo nga balowooza nti gibamalira budde, ng’ekyabatwala ku masomero kusoma bya mukibiina.

“ Kino si kituufu era kisaana kikome,” Bulya bwe yakkaatirizza.

Ye akulira essomero lino, Anthony Kato Ssentongo, yagambye nti emizannyo bagiteekako essira kuba giyamba abayizi okubeera abalamu, n’obwongo okuba nga bukola bulungi.

Ennyumba ya Mars, ye yawangudde n’eweebwa sseddume w’ente, ekikopo n’ebirabo ebirala.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pala 220x290

Ebya Nagirinya biyingiddemu omukazi...

POLIISI eyongedde okugaziya okunoonyereza kwayo mu kutemula Maria Nagirinya, bwegguddewo fayiro ku mukyala omu...

Rermanamakula 220x290

Rema amalirizza okugula eby’omukolo...

OMUGOLE Rema Namakula akomyewo okuva e Buyindi ne mu Butuluki na ssanyu era agamba tewali ayinza kwekiika mu mukolo...

Img20190831wa0235209984377320145757 220x290

Ebikwata ku kusoma kwa Sebunya...

HAMZAH Sebunya, bba wa Rema omupya yasooka kukuguka mu by’okukebera omusaayi mwe yatikkirwa dipulooma mu November...

Manya 220x290

Omukyala asusse okumpisiza omukka...

SSENGA, Mukyala wange alina omuze gw’okumpisiza omukka ate nga guwunya bubi ddala. Tusula mu muzigo kale bw’akikola...

Gnda 220x290

Omukyala kaalaala alumya omutima...

NG’OMUKWANO bwe bagamba nti butiko tebukkatirwa nange olugero olwo nali n’alukwata bulungi era ebbanga lye nnamala...