TOP

PSG eyingidde olwokaano lw'okugula Eriksen

By Musasi wa Bukedde

Added 21st November 2018

Real Madrid ye yasoose okwesowolayo okugula Eriksen wabula kati ne PSG eyingidde olwokaano.

Eriksen 703x422

Eriksen

BAKYAMPIYONI ba Bufalansa aba PSG, bayingidde olwokaano lwa ttiimu ezaagala okugula ssita wa Spurs, Christian Eriksen.


Real Madrid, ye yasoose okwesowolayo okugula omuzannyi ono ng'egemba nti eyagala emutwale, asikire Luka Modric alabika ng'akaddiye era ne bamussaamu obukadde bwa pawundi 40. Wabula kati, PSG nayo yeesozze olwakaano nga bagamba nti nabo omuzannyi ono bamwagala.


Eriksen, 26, endagaano ye ne Spurs ebuzaako emyezi 18 eggweeko kyokka Spurs eyagala kumuwa ndala. Kyokka kigambibwa nti ye ng'omuzannyi  yandiba nga si musanyufu mu Spurs, olw'okuva mu buvune wabula n'asanga ng'ennamba etandika si ya lubeerera. Mu mipiira 7 egisembyeyo, 3 ku gyo abadde atandikira ku bbenci.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lib2 220x290

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka...

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka kutwala ssabawolereza wa Gavumenti mu kkooti

Web 220x290

Nnaalongo akubye omwana wa muggya...

OMUKAZI atuze omwana wa muggya we n’amutta poliisi n’emutaasa ku batuuze nga baagala kumugajambula.

Kit2 220x290

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa...

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa e Luzira

Hip2 220x290

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa...

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa e Kayunga

Gat2 220x290

Abagambibwa okutigomya Matugga...

Abagambibwa okutigomya Matugga Poliisi ebakutte