TOP

Magogo atwala Cranes mu World Cup

By Musasi wa Bukedde

Added 21st November 2018

Pulezidenti wa FUFA, Ying. Moses Magogo, aweze nga bw'agenda okukola ekyafaayo ng'atwala Cranes mu World Cup omulundi ogusookedde ddala mu 2026

Cranesweb 703x422

Abazannyi ba Cranes nga bajaganya oluvannyuma lw'okuyitawo. (Ekif. Stepehn Mayamba)

OLUZIZZA  Cranes mu mpaka za AFCON,  pulezidenti wa FUFA, Moses Magogo, n’asuubiza ga bw’agenda okwongera okuwa Bannayuganda essanyu ng’abatwala mu World Cup omulundi ogusookedde ddala mu byafaayo.

Magogo yagambye nti mu mwaka gwa 2026, Uganda erina okubeera mu World Cup egenda okubeera mu USA, Mexico ne Canada.

“ Kino kisobokera ddala kuba tugenda kulaba nga bamusaayimuto be tulina mu Cranes tubakuumira ku mutindo,” Magogo bwe yannyonnyodde.

 ing oses agogo pulezidenti wa Ying. Moses Magogo, pulezidenti wa FUFA

 

Yagasseeko nti; “ Bwentyo bwe nabagamba nti Cranes ngitwala mu AFCON mu 2019, ne mulowooza nti nsaaga, naye mukyerabiddeko,” Magogo bwe yeewaanidde mu lukung’aana lwa bannamawulire lwe yatuuzizza ku kitebe kya FUFA e Mengo, ku Lwokusatu.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

She1 220x290

Abaafunye akabenje mu Ambulance...

Abaafunye akabenje mu Ambulance baziikiddwa

Rak1 220x290

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye...

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye n'afiirawo e Rakai

Gat2 220x290

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana...

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana akkiriza omusango n'asaba ekisonyiwo

Mut1 220x290

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate...

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate kya Maama Nnabagereka

Mala1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga...