TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Emery ayagala kumegga Spurs agiggye mu bana abasooka

Emery ayagala kumegga Spurs agiggye mu bana abasooka

By Musasi wa Bukedde

Added 26th November 2018

Okuva Man City ne Chelsea lwe zaakuba Arsenal mu gyaggulawo sizoni, teddangamu kukubwa.

2018arsenalceleb 703x422

Abazannyi ba Arsenal nga basanyukira ggoolo ya Aubameyang. Arsena yawangudde Bournemouth (2-1).

OMUTENDESI wa Arsenal, Unai Emery agambye nti eky’okuba nti ttiimu ye emaze emipiira 17 mu mpaka zonna nga tekubiddwaamu tekikola makulu wabula ekisinga obukulu kwe kugizza ku ntikko.

Emery yabadde ayogera n’abaamawulire oluvannyuma lw’omupiira gwa Bournemouth, Arsenal gwe yawangudde ggoolo 2-1 ku Ssande.

Emery agamba nti balina okulwana okulaba nga basigala nga bawangula bawe abawagizi essanyu ssaako okuzza Arsenal mu bifo bye yabeerangamu edda.

 iigi ya remier bweyimiridde Liigi ya Premier bw'eyimiridde.

 

Arsenal ebadde emaze emipiira ena ng’ekola maliri nga ku gino, esatu gya Premier (Wolves 1-1, Liverpool 1-1 ne Crystal Palace 2-2) era obuwanguzi bwe baafunye ku Ssande, bwabazizzaamu endasi.

Bali mu kyakutaano ku bubonero 27 era Emery yategeezezza nti balina okulwana ennyo ku Ssande bawangule Spurs bagiggye mu bana abasooka bo beesogge ekimu ku bifo ebyo.

 mery omutendesi wa rsenal Emery omutendesi wa Arsenal.

 

Spurs yawangudde Chelsea ggoolo 3-1 ku Lwomukaaga ne yeesogga ekyokusatu olwo batabani ba Maurizio Sarri ne badda mu kyokuna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip11 220x290

Laba engeri gy'osobola okufuna...

Laba engeri gy'osobola okufuna emitwalo 16 buli lunaku mu buti obukuma essigiri

Dad1 220x290

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde...

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde abato mu Toto Xmas Festival e Nmboole

Lip1 220x290

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi...

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga