TOP
  • Home
  • Rally
  • Suzan Muwonge ajaguzza okuwangula NRC 2018

Suzan Muwonge ajaguzza okuwangula NRC 2018

By Nicholas Kalyango

Added 27th November 2018

‘Super lady’, Suzan Muwonge alabudde abavuzi ba mmotoka z’empaka nti omwaka gujja akomawo kulwanira ngule.

Supalady2 703x422

Muwonge n'ebimu ku bikopo by'awangudde mu mmotoka z'empaka.

NANTAMEGGWA wa NRC 2018, ‘Super lady’, Suzan Muwonge alabudde abavuzi ba mmotoka z’empaka nti omwaka gujja akomawo kulwanira ngule n’akubalaga nti ddala takyali wa muzannyo.

Bino Muwonge yabyogedde ku kabaga kwe yajaganyiriza okuwangula engule y’emmotoka z’empaka ey’omwaka guno gye yatwalidde ku bubonero 395 oluvannyuma lw’okuwangula empaka z’e Mbale. Akabaga kabadde ku Stallion Hotel e Nateete ku Lwomukaaga.

 uwonge ku kkono ne dmon yeyune amusomera maapu nga basala keeci Muwonge (ku kkono) ne Edmon Kyeyune amusomera maapu nga basala keeci.

 

Muwonge yagambye nti, “Buli lukya nnyongera okwekiririzaamu. Obuwanguzi buno bwongedde okundaga nti ndi wa maanyi era nsobola okufufuggaza buli omu mu muzannyo guno.”

Yayongeddeko nti ayagala kutandika kuvuganyiza ku ngule ya Afrika kuba wano mu Uganda talyalina ky’amaanyi ky’agenda kulaga bawagizi. Muwonge yaakawangula engule z’eggwanga biri (2011 ne 2018).

Akabaga kano, kaabaddeko abavuzi b’emmotoka z’empaka ab’enjawulo nga basoose mu mmisa eyakulembeddwa Rev. Fr. Deogratius Kateregga Kiibi eyasabye abaami okuwagira bakyala baabwe mu buli kye bakola n’okwenyigira mu mizannyo egy’enjawulo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hab2 220x290

Abadde yeyita owa URA n'afera abantu...

Abadde yeyita owa URA n'afera abantu bamugombyemu obwala

Mutaka 220x290

Omutaka w’e Salaama eyalaama okumuziika...

MUSAJJAMUKULU awuniikirizza mukyala we, abaana n’abooluganda bwe babaggyiddeyo ekiraamo okukibasomera nga yalaama...

Asse abaana babiri naye ne bamutta...

Asse abaana babiri naye ne bamutta

Omuliro gwokeza enju 20

NABBAMBULA w’omuliro asaanyizzaawo amayumba agasukka mu 20 ku mwalo gw’e Misanga mu ggombolola y’e Galiraaya mu...

Eyagenda n'omusiguze akomyewo kufumba...

Eyagenda n'omusiguze akomyewo kufumba oluvannyuma lw'okukimanya nti bba yawasizza omukyala mulala n'akomawo ne...