TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Abayizi ba Victoria Mutundwe boolesezza ebitone mu mizannyo egy'enjawulo

Abayizi ba Victoria Mutundwe boolesezza ebitone mu mizannyo egy'enjawulo

By Vivien Nakitende

Added 2nd December 2018

Abayizi ba Victoria Mutundwe boolesezza ebitone mu mizannyo egy'enjawulo

Lip2 703x422

Abayizi nga baweebwa ekikopo

ABAYIZI b'essomero lya Victoria Mutundwe P/S bacamudde abazadde mu kwolesa ebitone mu mizannyo egy'enjawulo.
 
Baabadde ku lunaku lw'essomero olw'emizannyo olwa, Sports day olumalako ttaamu ey'okusatu mu pulogulaamu yaabwe eya Skills development egendererwamu okuzuula ebitone by'abayizi.

Abayizi okuva mu nnyumba ennya eziri ku ssomero lino okuli; Serve, Love, Work ne Learn, bavuganyizza mu mizannyo egy'enjawulo okuli; omupiira, okubaka, Basketball, Volleyball n'emisinde.

 
Gigenze okuggwa, ng'ennyumba ya Love enywedde mu zinnaazo akendo bwekungaanyizza obubonero 49 mu mizannyo gyonna neesitukira mu kikopo ekivakwasiddwa Mustafa Musisi okuva ku Makerere College abadde omugenyi omukulu.
 
Eddiriddwa ennyumba ya Learn n'obubonero 46, Work emalidde mu kyakusatu n'obubonero 44 ate yo Serve n'ekwata eky'okuna n'obubonero 38.

Abayizi ssekinnoomu abasinze mu bintu ebye'enjawulo omwaka guno, nabo baweereddwa amabaluwa agabasiima n'emidaali.

 
Mustafa Musisi, akulira eby'ensoma (D.O.S) ku ssomero lya Makerere College, abadde omugenyi omukulu, akubirizza abazadde okukwasiza awamu n'abasomesa n'abayizi okuvumbula ebitone byabwe kubanga omwana alina ekitone ebiseera bye eby'omumaaso bibeera bitangaavu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gav't eyimirizza okugabira abantu...

Gav't eyimirizza okugabira abantu emmere egambibwa okutabula Bannayuganda emitwe

Reb2 220x290

Abatuuze bazudde ebitundu by'omwana...

Abatuuze bazudde ebitundu by'omwana eyasaddaakibwa

Gamba 220x290

Paapa alonze omusumba w'e Soroti...

PAAPA Francis alonze Rev. Joseph Oliach Eciru okubeera Omusumba w’e Soroti omuggya. Polof. Ono abadde aweerereza...

Img20171208wa0060335186 220x290

Abasawo beemulugunyizza ku kulwawo...

ABASAWO abeegattira mu kibiina kya ‘‘Uganda Medical Association (UMA)’’, beemulugunyizza ku kya gavumenti okulwawo...

Webbetikyamyanewtdy 220x290

Abatembeeyi babakkirizza okukolera...

Abatembeeyi minisita baayogerako be batambula nga balejjesa ebintu so ssi abayiwa ebyamaguzi ku mbalaza ne ku mabbali...