OMUTENDESI wa Spurs, Mauricio Pochettino agambye nti yakoze ensobi okuleka Toby Alderweireld ku katebe ku mupiira Arsenal mwe yabakubidde ggoolo 4-2.
Arsenal yakubye Spurs ku Ssande n’edda mu kyokuna era nga kati erina kulwana nnyo okulaba ng’eddamu okulinnyisa omutindo okulaba ng’edda mu bana abasooka.
Mu nnamba ya Alderweireld, Pochettino yasoosezzaamu musaayimuto Juan Foyth kyokka omutindo gwe tegwabadde mulungi bw’ogeraageranya omutindo abazannyi ba Arsenal kwe baabadde.

Kino kyavuddeko Arsenal okubava emabega n’ebakuba ggoolo ssatu ezaabalemesezza okuwangula omupiira guno gwe baawummudde ekitundu ekisooka nga bakulembedde ggoolo 2-1.
Ensobi ezaakubizza Spurs ezimu zaavudde mu kisenge era omuzibizi waayo Jan Vertonghen n’aweebwa kaadi emmyuufu mu ddakiika y’e 85.
Spurs ekyaza Southampton ku Lwokusatu mu Premier, omupiira gw’erina okuwangula okulaba ng’edda mu bifo ebina ebisooka.
Mu ngeri y’emu, Arsenal ekyalira ManU ku Old Trafford olunaku lwe lumu nayo ng’erina okuwangula omupiira guno mu buli ngeri okulaba nga yeenywereza mu kifo kyokuna.