TOP

She Cranes ekyavuya e Bungereza

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd December 2018

She Cranes erina okulinnyisa omutindo nga World Cup w'omwaka ogujja tennatuuka

Shecranesweb 703x422

Aba She Cranes nga tebannasitula kugenda Zambia gyebuvuddeko

Bya GERALD KIKULWE

International Netball Friendly Series 

England Roses 50-46 She Cranes

England Roses 65-53 She Cranes

England Roses 66-37 She Cranes

TTIIMU ya Bungereza ey’okubaka (England Roses) ezzeemu okukuba ebituli mu ya Uganda (She Cranes) omulundi ogwokuna bwe yagiwangudde  mu gw’omukwano mu kibuga London.

Ku Lwokubiri oluwedde She Cranes yawangulwa ku bugoba (50-46) , n’eddibwamu ku Lwomukaaga (65-53),  ne Ssande ku (66-37). Ttiimu zino zaasooka kusisinkana mu mizannyo gya Commonwealth egyali mu kibuga Gold Coast mu Australia mu April w’omwaka guno, England Roses n’ewangula obugoba 55-49.

She Cranes ne England Roses zeetegekera World Cup eneebeera  mu kisaawe kya Echo Arena mu kibuga Liverpool e Bungereza omwaka ogujja.

Ruth Meeme, Halima Nakachwa, Peace Proscovia, Rachael Nanyonga, Stella Nanfuka, Lilian Ajio ne Muhayimina Namuwaya be baazannye.

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

She1 220x290

Abaafunye akabenje mu Ambulance...

Abaafunye akabenje mu Ambulance baziikiddwa

Rak1 220x290

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye...

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye n'afiirawo e Rakai

Gat2 220x290

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana...

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana akkiriza omusango n'asaba ekisonyiwo

Mut1 220x290

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate...

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate kya Maama Nnabagereka

Mala1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga...