TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Ttiimu z'oku Kaleerwe zittunse mu mupiira

Ttiimu z'oku Kaleerwe zittunse mu mupiira

By Samson Ssemakadde

Added 3rd December 2018

Kajubi Market FC ye nnatameggwa w'endala okuva mu katale k'oku Kaleerwe,mu mupiira

Kajubiweb 703x422

ssentebe wa Freedom Market FC, Saidi Waiswa (owookusatu ku kkono), ng'akwasa Augustin Balinya, kapiteeni wa Kajubi FC, ekikopo.

Guaguarian FC (5) 1-1 (4) Semiguwa Market FC

Freedom Market FC (1) 1-1 (4) Kajubi Market FC

WADDEMathias Hulesio yasoose kubeera muzira wa ttiimu y’abatikula ebyamaguzi (Freedom Market FC) mu katale k’oku Kalerwe,  omupiira gye gwaggweredde ng’abawagizi bamwekokkola.

Bano baabadde battunka ne Kajubi Market ku fayinolo y'empaka z’abasuubuzi b’omu katale k’oku Kalerwe ku kisaawe e Bwaise. Ttiimu 12 ze zeetabye mu mpaka zino ezaabadde ez’omulundi ogwokubiri. Freedom Market FC ye yawangula ezaasooka.

Mu mupiira guno, abasuubuzi b’ennyanya (Kajubi Market FC) be baasoose okukulembera mu kitundu ekisooka nga bayita mu Faizal Nsubuga, wabula Mathias Hulesio n’afunira Freedom Market FC ey’ekyenkanyi mu kitundu ekyokubiri.

Wabula wadde Hulesio yasobodde okukomyawo ttiimu ye mu muzannyo, peneti z’agenze okuggwayo nga banne bamwekokkola oluvannyuma lw’okubeera omu ku baasubiddwa peneti nga bawangulwa 4-1.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sud1 220x290

Abaliko obulemu babagabudde ebya...

Abaliko obulemu babagabudde ebya ssava bya Ssekukkulu

Sub1 220x290

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi...

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi bw'omwaka n'aweebwa Subaru empya ttuku

Tysonfury 220x290

Tyson Fury si waakuzannya Anthony...

Fury agenda kudding'ana ne Deontay Wilder mu February w'omwaka ogujja.

Parma 220x290

ManU etunuulidde musaayimuto wa...

ManU ekyayigga bazannyi banaagizza ku maapu sizoni ejja. Mu kiseera kino eri mu kyamukaaga ku bubonero 24.

2018wolvesceleb32 220x290

Arsenal esabye Wolves olukusa eyogere...

Nuno Espirito yatendekako Valencia eya Spain, FC Porto ne Rio Ave ez'e Portugal nga tanneegatta ku Wolves.