TOP
  • Home
  • Ebirala
  • Abatendesi banyiivu ne badiifiri ba liigi y'abakazi

Abatendesi banyiivu ne badiifiri ba liigi y'abakazi

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd December 2018

Abatendesi ba liigi y'abakazi basabye ba ddiifiri okubeera abeerufu nga balamula emipiira.

Silvanoweb 703x422

Omusambi wa Muteesa Abiba Nakayombya (ku ddyo) ng'alwanira omupiira n'abasambi ba She Corporate Cissy Akuku ne Wilmer mu FUFA Women Elite League ku Ssande, ku kisaawe kya MUBS (Ekif. Silvano Kibuuka)

Bya GERALD KIKULWE ne SILVANO KIBUUKA

FUFA Women Elite League

Kawempe Muslim 2–0 Dynamic SS Jeeza

Lady Doves 1-1 Rines

Lango Queens 2-1 Town View SS

Isra Soccer Academy 1-4 Kampala Queens

Ajax Queens 2-0 Gafford Ladies

Uganda Martyrs High School 1-1 She MAK

She Corporate 0-0 Muteesa I Royal University

Omutendesi wa She Corporate mu liigi y’abakazi abasamba omupiira, Ali Zinda asabye baddiifiri abalamula emipiira egyo okwongera okubeera abeerufu n’okubeera fiiti ekimala okulaba ebisobyo gisobole okutambula obulungi nga ttiimu tezikaayana.

Abyogedde baakagwa amaliri ne ttiimu ya Muteesa I Royal University nga tewali alengedde katimba ka munne ku kisaawe kya MUBS e Nakawa ku Ssande.

“Muwadde aba Muteesa ekoona eritaliiwo. Kati olwo singa lyavuddemu ggoolo?  Ebyo binyiiza abasambi n’abatendesi wadde nga twekuuma obutasiiwuuka mpisa”, Zinda bwe yategeezezza.

Omupiira guno gwalamuddwa ddiifiri Shakira Nyange.

 

Abazannyi ba Kawempe (Ekif. Gerald Kikulwe)

 

Mu mupiira omulala, bannantameggwa  ba liigi eno sizoni nnya ez’omuddiring’anwa aba Kawempe Muslim WFC, baawangudde Dynamic Jeeza WFC  ggoolo 2-0, ne boongera okwenywereza ku ntikko y'ekibinja Victoria, ku Ssande.

Kawempe yaakawangula emipiira etaano ku mukaaga egyakazannyibwa sizoni eno, era yekulembedde y’ekibinja kinon’obubonero 16. Bazzaako Ajax Queens ku Ssande nga December 9.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

She1 220x290

Abaafunye akabenje mu Ambulance...

Abaafunye akabenje mu Ambulance baziikiddwa

Rak1 220x290

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye...

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye n'afiirawo e Rakai

Gat2 220x290

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana...

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana akkiriza omusango n'asaba ekisonyiwo

Mut1 220x290

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate...

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate kya Maama Nnabagereka

Mala1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga...