TOP

Kitara ne Kiboga balwanira ntikko ya Rwenzori

By Musasi wa Bukedde

Added 5th December 2018

Kitara ne Kiboga balwanira ntikko ya Rwenzori

Kib2 703x422

Kansai Plascon FC – Kabale Sharp FC,Mukono

Kiboga Young FC – Kitara FC,Bamusuuta

Bumate United FC – Ntinda United FC,Bundibuggyo

Entebbe FC – Amuka Bright Stars FC, Wankulukuku

Doves All Stars FC – JMC Hippos FC,Arua

Kataka FC – Light SS FC, Mbale

UPDF FC – Bukedea T/C FC, Luwero

TTIIMU ya Kitara FC mu Big League erwana kuwanulayo Proline FC ku ntikko y’ekibinja kya Rwenzori ng’ekyalidde Kiboga Young FC enkya ku kisaawe kya Bamusuuta SS e Kiboga.

Ng’ezimbira ku buwanguzi bwe yafuna wiiki ewedde ng’emegga Bumate United FC ggoolo 4-1,  Kitara abaamalira ku mutendera gwa “Play offs” bwe baakwata ekifo ekyokuna sizoni ewedde, ku luno baagala kuddamu kulwanira bifo bya kumwanjo okutangaaza emikisa gy’okwesogga “Super” sizoni ejja.

Atugonza Joshua Maneja wa ttiimu agamba nti tebagenda kusaasira  ttiimu yonna ebasala mu maaso era Kiboga bagenda kugisamba nga fayinolo okugifunako obubonero.

“Newankubadde Kiboga eri waka ate baliraanwa baffe, naye tetugenda kubawa kitiibwa yadde okubanyigira ku liiso, kye twagala kimu bubonero okutangaaza emikisa gyaffe,” Atugonza bwe yakakkasizza.

Kitara eri mu kifo kya 3 wabula benkanya obubonero ne Kiboga (8) abali mu kyokuna, emabega wa Proline FC ekulembedde ekibinja kya Rwenzori n’obubonero 10 ng'ezannya lwamukaaga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fire1 220x290

Obubenje bwatuze 32 mu wiikendi...

OMUWENDO gw’abantu abaafi­iridde mu bubenje obwaguddewo ku Ssande gulinnye nga baweze 32.

Aniteweb 220x290

Bamafia baagala kunzita - Anite...

MINISTA omubeezi avunaanyizibwa ku bamusiga nsimbi, Evelyn Anite avuddeyo n’alaajana ku bamafia abaagala okumutta,...

Isabirye1 220x290

Mzee Kifansalira owa NRM bamugoba...

KAKUYEGE wa NRM mu Bwaise, Isabirye Musa amanyiddwa nga “Kifansalira” asula ku tebuukye olwa landiroodi we okumulaalika...

Urawebnew 220x290

URA emalidde mu kyakutaano mu za...

URA FC ewangudde Wakiso Giants mu mpaka za Pilsner Super 8

Mustafi000 220x290

Mustafi wa Arsenal agenda

Roma eya Yitale, ye yagala okumuggya mu Arsenal