TOP

Welbeck agendera ku bwereere

By Musasi wa Bukedde

Added 5th December 2018

Mu kiseera kino, Welbeck ali mu kujjanjabibwa buvune mu vviivi bwe yafuna ku ntandikwa y'omwezi oguwedde era abuusibwa okuddamu okuzannya sizoni eno.

Web12 703x422

welbeck

ARSENAL, etendekebwa Unai Emery, nneetegefu okweggyako Danny Welbeck wadde anaaba agendera ku bwereere.


Mu kiseera kino, Welbeck ali mu kujjanjabibwa buvune mu vviivi bwe yafuna ku ntandikwa y'omwezi oguwedde era abakungu ba Arsenal tebannategeeza ddi lw'anadda wadde nga kiteeberezebwa nti waakumalayo sizoni yonna.


Endagaano ye Welbeck mu Arsenal, eggwaako sizoni eno ekitegeeza nti singa tezzibwa buggya, abeera waakwabulira Arsenal nga temufunyeemu wadde ekikumi. Kyokka kino tekiyugudde Emery ttama kuba agamba nti ye (Welbeck) ne Aaron Ramsey, be bamu ku bazannyi, b'atagenda kwesibako  oba bagenda ne bagenda.


Okwogeza amaanyi, Emery yeesigudde kukomyawo musaayimuto Reiss Nelson y'aba adda mu bigere bya Welbeck. Musaayimuto ono Arsenal yamwazise mu Hoffenheim eya Girimaani era omutindo gw'ayolesezza mu liigi yaayo, gwe gusirikirizza Emery okumuzza.


Ye Welbeck, yeegatta ku Arsenal mu 2014 ng'ava mu ManU, ttiimu ezimwagala kuliko Crystal Palace.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dav1 220x290

Museveni beyakuzizza bambaziddwa...

Museveni beyakuzizza bambaziddwa ennyota zaabwe

Mum2 220x290

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku...

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku kakalu ka kkooti tewayise n'addakiika n'addamu okukwatibwa

Lab2 220x290

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa...

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa alaajanye

Kab2 220x290

Ssewungu akubirizza bannaddiini...

Ssewungu akubirizza bannaddiini okuvumirira empaka

Lwa2 220x290

Ogwa Lwakataka gwongezeddwayo

Ogwa Lwakataka gwongezeddwayo