TOP

Misagga akalize bataano mu nyamityobora

By Musasi wa Bukedde

Added 6th December 2018

Misagga akalize bataano mu nyamityobora

Nab1 703x422

Bya Gerrald Kikulwe

NGA ttiimu ya Nyamityobora FC mu liigi ya “Super” yeetegekera okukyalira Tooro United FC ku lwomukaaga luno, Pulezidenti waayo Ben Misagga avudde mu mbeera n’akaliga abazannyi 5 olw’okusiiwuuka empisa.

Misagga eyeegatta ku Nyamityobora mu August w’omwaka guno abadde yaakalangirira omutendesi omuggya Asaph Mwebaze oluvannyuma lwa James Odoch okusuulawo ogw’obutendesi n’atte abonerezza abazannyi okuli Ggoolo kippa Hilary Jomi, abateebi John Wesley Kisakye ne Patrick Gonahasa,abawuwuttanyi Ivan Mbowa ne Ibrahim Massa.

Pulezidenti anyonnyola nti abavubuka bano bawummuziddwa okutuusa olukiiko we lunaasalawo bakomewo ku ttiimu olw’empisa zaabwe ensiiwuufu okuli okukuma omuliro mu bazannyi bannaabwe,okuddira ssente za ttiimu ne bazikolamu ebyabwe, okutunda emipiira n’ebirala bingi.

“Tubawumuzzaamu okumala ebbanga eritali ggere basooke beetereeze okusinga okwonoona ttiimu yonna, olukiiko lwa ttiimu bwe lunaasalawo bakomewo nga bakomawo,” Misagga bwe yakkaatirizza.

Bano kati beegasse ku ggoolo Kippa Franco Oringa, Henry Wamala ne Bruhan Matovu abaakaligibwa omwezi oguwedde ku nsonga ezeekuusa ku kutunda emipiira gya Nyamityobora.Nyamityobora y’eddiridde asembye n’obubonero 4 mu mipiira 9 nga bakyalira Tooro United FC ku lwomukaaga luno e Fortportal.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dav1 220x290

Museveni beyakuzizza bambaziddwa...

Museveni beyakuzizza bambaziddwa ennyota zaabwe

Mum2 220x290

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku...

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku kakalu ka kkooti tewayise n'addakiika n'addamu okukwatibwa

Lab2 220x290

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa...

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa alaajanye

Kab2 220x290

Ssewungu akubirizza bannaddiini...

Ssewungu akubirizza bannaddiini okuvumirira empaka

Lwa2 220x290

Ogwa Lwakataka gwongezeddwayo

Ogwa Lwakataka gwongezeddwayo