TOP

Owa Maroons ataasizza eya Big League

By Musasi wa Bukedde

Added 6th December 2018

Owa Maroons ataasizza eya Big League

Kop2 703x422

AKATEBE gwe kabadde kookya mu  Maroons FC  eya “Super” Moses Batte Wasswa atakkuluzza Water FC ku Kireka United FC ebadde efuuse olukokkobe bw’agiteebedde ggoolo ebawanguzza omupiira gwabwe ogwokubiri sizoni eno.

Wasswa 20, nga yaakegatta ku Water FC eya Big League ku buyazike okuva mu Maroons FC eya “Super” ye yafuuse ensonga ne ggoolo 1-0 Kireka bwe yabadde ekyadde e Wankulukuku ku lwokusatu eky’ayongedde okutangaaza emikisa gya Water FC okumalira mu bifo ebyokumwanjo ng’ekitundu kya sizoni ekisooka kikomekkerezebwa.

“Maze Sizoni ssatu mu Maroons naye nga sifuna budde bumala ku kisaawe ekibadde kikendeezezza omutindo gwange naye kati nkakasa nti nsumulukuse okunoonyeza ttiimu yange obutimba,” Wasswa bwe yakkaatirizza.

Umar Ssenoga atendeka Water FC  agamba nti be bamu ku baludde mu Big League naye ku luno baagala kutuuka Lugogo ku mutendera gwa “Play offs” ate beesogge liigi ya babinywera.

Water FC eri mu kifo kya kutaano n’obubonero 8 mu kibinja kya Rwenzori ekikulembeddwa Proline FC gye bazzaako ku lwokuna lwa wiki ejja.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Team 220x290

Minisita alonze akakiiko akanaasalawo...

MINISITA w’ebyenjigiriza Janet Museveni alonze akakiiko ka bantu 17 okwekenneenya lipooti eyakolebwa akakiiko k’omugenzi...

Gomez 220x290

Selena Gomez alangiridde bw'agenda...

Selena yatambulira ku mukolo gwa Cannes ogwa kapeti emmyuufu nga Murray atongoza firimu ye empya emanyiddwa nga...

Hat2 220x290

Abakulembeze be Kawempe bakukkulumidde...

Abakulembeze be Kawempe bakukkulumidde poliisi olw'okutyobola ekitiibwa kyabwe

Bajulizi 220x290

Emikolo gy'okutegeka olunaku lw'Abajulizi...

BANNAYUGANDA abeegattira mu kibiina ekimanyiddwa nga Uganda Cryodon Catholic Community ekisangibwa ku njegoyego...

Jeje703422 220x290

Minisita JJ Odongo alumbye Poliisi...

MINISITA w’ensonga ez’omunda Gen. Jeje Odongo (wansi) atabukidde abakulu mu poliisi olw’enguzi esensedde ekitongole...