TOP
  • Home
  • Rally
  • MUHANGI: Ab'emmotoka abalekedde eddibu

MUHANGI: Ab'emmotoka abalekedde eddibu

By Musasi wa Bukedde

Added 7th December 2018

CHARLES Muhangi y’omu ku bannabyamizannyo abaali abettutumu ennyo mu myaka gy’e 90. Yali muvuzi wa mmotoka za mpaka kyokka nga n’omupiira agwenyigiramu nnyo. Eggulo (Lwakuna) yasangiddwa mu nnyumba ng’afudde.

Hangi1 703x422

Muhangi lwe yasemba okulabikako mu mmotoka z’empaka. Baali batongoza mpaka z’e Mbarara omwaka guno. Ku kkono ye David Bitalo ne Hamid Gombe.

Tukukubidde ttooci mu ngeri gye yeenyigira mu mizannyo era lwaki agenda kujjukirwa.

Ye ya tandika Horizon FC Mu 1999 yatandikawo kiraabu y’omupiira eya Horizon ng’eno yali eva Kabale.

Mu 2000, ttiimu eyo yazannya empaka za Mini- League n’ekuba Kinyara (2-0) okwesogga ‘Super’ ya 2001. Kyokka mu ‘Super’ teyawangaalayo kuba baagisalako nga sizoni eweddeko.

Okusinziira ku Charles Ayeikho eyatendekako Horizon ng’ekyali wansi wa Muhangi, okusalawo kwa FUFA kwaleetera Muhangi okuva mu mupiira n’asuulawo ttiimu.

Eyali maneja wa ttiimu eno, Khalid Ratif yakaligibwa FUFA oluvannyuma lw’ebyagambibwa nti yakuma mu bawagizi omuliro ne balwana, bwe baali bazannya ne KBC, ng’entabwe eva ku ddiifiri kugaba ggoolo nfu.

Khalid baamukaliga obulamu bwe bwonna nga tazzeemu kwesembereza mupiira era kino ne Muhangi kyamugoba ku mupiira n’asigala mu bizinensi ze.

Wabula mu 2008, FUFA yeefukulula n’eggya ku Khalid ekkoligo era Horizon n’ezzibwawo wabula nga Muhangi tagiriiko era omwaka ogwo yaddamu n’egwa nga n’okutuusa kati teddanga ngulu.

Horizon ya Muhangi ejjukirwako okuleeta abazannyi omwali; Joseph Kabagambe, Geoffrey Sserunkuuma, Ben Kalama, Dickson Hatihayire n'abalala.

Ye ya sooka okuleeta Subaru mu mmotoka z’empaka Ng’omuzannyo gwa mmotoka gukula, abavuzi baatandika okuyingiza emmotoka ez’amaanyi. Bangi baalinga bavuga emmotoka ekika kya Toyota Celica, Levin, Supra n’endala, wabula bwe baatandika okuleeta ez’amaanyi, Muhangi ye Munnayuganda eyasooka okugula mmotoka ekika kya Subaru Impreza N10.

Emmotoka eno gye yawanguliramu engule ya Afrika mu 1999 era baagikazaako erya ‘Yellow Bird’ wabula nga ye yagyetuumira ‘Ekitaguriiro’.

Yagigula mu 1998 okuva mu Scotland. Erinnya ‘Ekitaguriiro’ kwe lya va Bwe yali ayogerako ne Bukedde, Muhangi yagamba nti, “Ekitaguriiro mazina ga kinnansi abantu okuva mu bitundu by’e Kigezi - Ankole ge bazina naddala nga basanyuse.

 ubaru mpreza 10 kitaguriiro uhangi mwe yakolera ebyafaayo Subaru Impreza N10 (Ekitaguriiro), Muhangi mwe yakolera ebyafaayo.

 

Buli lwe nnayisanga emmotoka ku bawagizi nga mbaleka basanyufu era bwe nanoonya erinnya ery’enjawulo ku balala, ne ndaba ng’eryo lye lisaana okukozesa.” Afudde ne likodi mu mmotoka z’empaka Muhangi ye Munnayuganda eyasooka okuwangula engule ya Afrika (ARC) mu 1999.

N’okutuusa kati tewali Munnayuganda yali azzeemu kuwangula ngule eno. Jas Mangat yagyesimbamu mu 2013 wabula ekintu kyamuyiikako mu mpaka ezaali zisembayo (zaali mu Madagascar) teyazimalaako era omwaka ogwo Omuzambia Jassy Singh yagiwangula ku bubonero 106. Mangat yamalira mu kyakubiri n’obubonero 83.

Yagaanako okuvuga empaka Mu 2005, Ponsiano Lwakataka bwe yali atwala engule ye ey’eggwanga (NRC) eyasooka, Muhangi ng’ali n’abavuzi abalala okwali; Chipper Adams, Moses Lumala, Riyaz Kurji ne Charlie Lubega, baagaana okwetaba mu mpaka ezaali ziggalawo kalenda.

Entabwe yava ku kufa kwa Abed Musa eyali asomera Charlie Lubega maapu. Abavuzi baateesa baleme kuvuga basooke baziike munnaabwe kyokka abamu ne bagaana ate ne FMU (ekibiina ekiddukanya omuzannyo guno) n’egaana okwongezaayo empaka.

Riyaz ye yali agenda okuwangula engule eno era yali agyetaaga kuba yali ayagala obubonero 10 bwokka. Lwakataka ye yafuna mu butavuga bwa bano kuba yeegatta n’abavuzi abato ne bavuga empaka ezo ze yawangula n’engule n’agitwala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fot2 220x290

Omucuula guyamba ku lubuto olwesibye...

Omucuula guyamba ku lubuto olwesibye

Kab3 220x290

Owoolubuto weekwate ekiyondo okutereeza...

Owoolubuto weekwate ekiyondo okutereeza emmeeme

Gat2 220x290

Abayizi n’abaana nabo basobola...

Abayizi n’abaana nabo basobola okulumirirwa abalala mu kisiibo

Wab2 220x290

Nja kufiira ku babba eddagala -...

Nja kufiira ku babba eddagala - Ssentebe

Fut2 220x290

Omusawo bamukutte kufera bantu...

Omusawo bamukutte kufera bantu