TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kabonge atiisizza okusuulawo Entebbe FC mu Big League

Kabonge atiisizza okusuulawo Entebbe FC mu Big League

By Musasi wa Bukedde

Added 7th December 2018

Kabonge atiisizza okusuulawo Entebbe FC mu Big League

Hip2 703x422

OMUTENDESI wa Entebbe FC Allan Kabonge azze akola erinnya n’ebyafaayo mu ttiimu za Big League ez’enjawulo,ku luno obuwanguzi bumwesambye n’atiisatiisa okusuulawo omulimu amangu ddala ng’ekitundu kya sizoni ekisooka kiwedde.

Kabonge ajjukirwa ayingizza ttiimu za Big League ssatu mu sizoni ssatu ez’omuddiringanwa okuli Paida Black Angels(2017/18), Masavu FC (2016/17) ne Onduparaka FC(2015/16) wabula sizoni eno ebintu bimutabuseeko nga mu mipiira ettaano ttiimu ye gye yaakazannya terinaamu wiini yonna era wano we yeekyangidde n’atiisatiisa okusuulawo ttawulo .

Agamba nti ttiimu erimu emivuyo mingi egitasobozesa bazannyi kutendekebwa bulungi nate naye mmwenyini talina busobozi buyimirizaawo ttiimu ku ssente ze ng’esinga obulungi kwe kugyabulira.

“Ttiimu eno bw’eteetereeza,ekitundu kya sizoni ekisooka bwe kiggwa nga nfuna ekibanja awalala kuba nze siri mutendesi wa mivuyo wabula buwanguzi,” Kabonge bwe yatiisizatiisizza.

Amuka Bright Stars kati eri mu kifo kya kubiri n’obubonero 9 emabega wa Light SS FC abakulembedde ekibinja kya Elgon n’obubonero 11 ate Entebbe FC y’esembye n’obubonero 4.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sev3 220x290

Museveni agguddewo olusirika lwa...

Museveni agguddewo olusirika lwa NRM

Kab2 220x290

Ababadde bazze okupima ettaka emmotoka...

Ababadde bazze okupima ettaka emmotoka yaabwe bagikumyeko omuliro

Lab2 220x290

Kirya yeesozze "quarter" za Uganda...

Kirya yeesozze "quarter" za Uganda Cup n'okontola

Pop1 220x290

Okusunsula abayizi abagenda mu...

Okusunsula abayizi abagenda mu S5 kuwedde

Lop2 220x290

Ababbi balumbye ebyalo abatuuze...

Ababbi balumbye ebyalo abatuuze ne battako omu