TOP

Africell eyiye kavu wa bukadde 15 mu 'Rupiny Christmas Cup'

By Stephen Mayamba

Added 13th December 2018

KAMPUNI y’amasimu eya Africell etadde kavu wa bukadde 15 mu mpaka z’omupiira ez’okukuza amazaalibwa ga Yesu ezitegekeddwa Radio ya Rupiny eri wansi wa Vision Group.

Rupiny1 703x422

Edgar Karamagi omwogezi wa Africell (ku kkono) ng'akwasa Max Adii akulira eby'enfuna ebifulumizibwa ku leediyo za Vision Group ogumu ku mijoozi egiwera seeti 8 ezaweereddwayo okugabibwa eri ttiimu 8 ezinatuuka ku 'quarter' y'empaka za Rupiny Christmas Cup 2019. (STEPHEN MAYAMBA)

KAMPUNI y’amasimu eya Africell etadde kavu wa bukadde 15 mu mpaka z’omupiira ez’okukuza amazaalibwa ga Yesu ezitegekeddwa Radio ya Rupiny eri wansi wa Vision Group.

Ttiimu 25 ze zeetabye mu mpaka za ‘Rupiny Christmas Cup 2018’ ez’omulundi ogw’okubiri era nga ttiimu omunaana ezinatuuka ku ‘quarter’ buli emu yakuweebwa seeti y’omujoozi empya ttuku ogwawereddwayo Africell. Emijoozi gye gimu ku birabo ebirala ebigenda okuweebwa aabwanguzi n’ensimbi enkalu ezawereddwayo Africell okuwagira empaka zino ezatandika edda nga ziyindira mu bitundu bya Acholi.

Ng’akwasibwa emijoozi ku kitebe kya kampuni ya Vision Group efulumya ne Bukedde Maxi aAdii avunaanyizibwa ku byekuusa ku byenfuna ebifulumizibwa ku leediyo za Vision Group yasiimye Africell olw’akuteeka obw’esigge mu Vision Group ng’eyita mu Radio Rupiny nesalawo okukolagana nayo nga bagezaako okuddiza abawuliriza ng’eteeka sente mu mpaka z’omupiira ezigenda kubamalako ekiwubaalo mu biseera bya ssekukulu.

‘Tuli basanyuffu nnyo olwa Africell okutwegatako omwaka ogw’okubiri ogw’omuddiringanwa empaka zino nga zitegekebwa ne bakolagana naffe okutuusa essanyu eri abawagizi baffe. Wano wensabire ne kampuni endala okutwegatako mu ngeri yonna okulaba ng’empaka zino zongerwamu ebbugumu.’ Adii bwe yategeezezza.

Ye Edgar Karamagi omwogezii wa Africell eyakwasiza Adi emijoozi yasiimye kampuni ya Vision Group olw’okukiriza okukolagana nabo okutuuka n’okuddiza abawagizi baabwe mu bitundu bya Acholi nga bayita mu kuwagira empaka z’omupiira ezigenda okugatta bantu, okutumbula ebitone ate n’okubawa essanyu mu biseera bya ssekukulu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abr1 220x290

Empaka za ASFAs bazongeddemu ebirungo...

Basereebu beesunga kuwangula ngule mu mpaka z'emisono eza Abryanz Style and Fashion Awards (ASFAs)

Siba 220x290

Leero mu mboozi z'omukenkufu, tukulaze...

EMMWAANYI kyabugagga era bajjajjaffe baazitunda ne bakolamu ebintu eby’enjawulo omwali okusomesa abaana, okugulanga...

Kusasiraserenandijjo32 220x290

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira...

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira ku Serena: Museveni ayanukudde Mayinja ku by'oluyimba lwa 'Ebintu bizzeemu'

Cf67bb0a32be4b27bedf0076e8e46208 220x290

Bazannye ffirimu ku ngeri abavubuka...

Ekitongole kya Reach a hand nga kiri wamu n'Omunigeria kafulu mu kuzannya ffirimu Emmanuel Ikubese basabuukuludde...

Teekamu 220x290

Eyanzigya mu ssomero yeegaanye...

NKIZUDDE kati nti eyannimbalimba n’annemesa emisomo yali ayagala kunkozesa nga tanjagala bya ddala.