TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Stanbic Bank eyiye obukadde 330 mu mpaka za Uganda Cup, obululu bukwatiddwa

Stanbic Bank eyiye obukadde 330 mu mpaka za Uganda Cup, obululu bukwatiddwa

By Stephen Mayamba

Added 17th December 2018

OBULULU bw’empaka z’omupiira ez’okusirisizawo eza Stambic Uganda Cup ez’omwaka 2019 ku luzannya lwa ttiimu 64 bukwatiddwa enkya ya leero oluvannyuma lwa bbanka ya Stanbic eyasasulira ezisembyeyo okuzongeramu ensimbi.

Stanbicugandacup01 703x422

Okuva ku kkono; Rogers Byamukama akulira akakiiko akakola ku byakitunzi mu FUFA, Sonia Karamagi akulira abyakitunzi mu bbanka ya Stanbic, Moses Mgogo pulezidenti wa FUFA ne Hajjat Aisha Nalule akulira akakiiko akategeka empaka za FUFA nga bawanise ekikopo kya Stanbic Uganda Cup bwebabadde batongoza empaka za 2019 ku woteeri ya Serena ku Mande nga December 17, 2018. Stanbic yalinyisiza omuwendo gw'ensimbi ezigenda okugabibwa mu birabo okuva ku bukadde 90 omwaka oguwedde okutuuka ku bukadde 120. (STEPHEN MAYAMBA)

Okugyako Mbarara City ekyaza Maroons FC zonna eza liigi ya SUPL, endala zonna 14 zafunye ttiimu za mu bibinja bya wansi.

Bakyampiyoni aba KCCA FC bakyaza Amuka Bright Stars eya Big League so nga Vipers SC gye baakubira ku fayinolo ekyalira Rusekere Growers FC ey’ekibinja ekyawansi e Fort Portal era ng'emipiira wakati wa December 19 ne 27.

Bbanka ya Stanbic yayongedde ku nsimbi zegenda okusa mu mpaka zino okuva ku bukadde 300 ze yasa mu z’omwaka guno ezawangulwa KCCA FC ne zidda ku bukadde 330 omwaka ogujja nga ku zino obukadde 120 zigenda kugabanyizibwa ttiimu ku mitendera egy’enjawulo okuva ku muwanguzi saako n’abazannyi abanasinga banaabwe okukola obulungi.

Ng’ayogera ku ky’ensimbi okwongezebwa, Moses Magogo pulezidenti wa FUFA yasiimye aba Stanbic okubasaamu obwesige ne batakoma ku kuddamu kusasulira wabula ne balinyisa n’omuwendo ogw’okugaba ekigenda okuyamba okwongera okuvuganya n’okulinyisa omutindo mu mpaka zino.

Obululu obwakwatiddwa mu bujjuvu;

Vipers - Rusekere Growers 
Akadot FC - kitara FC 
Kira Utd - St Mary's/ Makindye Cubs 
SC Villa - Buganda 3 
Water FC - Saviors FC 
KCCA FC - Amuka Bright Stars 
Admin FC - Doves All Stars 
Bumate Utd - Ntinda Utd 
Bul FC - kataka FC 
U-Touch FC - Mvara FC 
Kyetume FC - UPDF FC 
Paidha Black Angels - Express FC 
Buganda 2 - Edgars Youth // Fire Fire FC 
Busia Young FC - Onduparaka FC 
Mbarara City FC - Maroons FC 
St Stephen/ Lungujja Galaxy - Budondo FC 
Tepper FC - Buganda 4 
Bukedea TC FC - Dove FC 
Tooro Utd - Entebbe FC 
Proline FC - Light SS FC 
Western 1 - Kiboga Young FC 
Calvary FC - Kabale Sharp FC 
Wakiso Giants FC - Vision FC 
Western 3 - Kirinya Jinja SS 
Bright Stars FC - Western 2 
Kachumbara FC - Nyamityobora FC 
Kireka Utd - New Villa FC 
Buganda 1 - koboko Rising Stars 
Police FC - Boma FC 
URA FC - JMC Hippos 
Ndejje University FC - Kansai Plascon 
Nebbi Central FC - Catida FC / Nansana Utd

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Benitez22 220x290

Benitez munyiivu olwa Newcastle...

Newcastle yeggyeeko omutendesi Benitez oluvannyuma lw'endagaano ye okuggwaako.

Oketchinstructinghisstudentswebuse 220x290

Oketch obwavu abugobye na kukola...

Mu kukola fulasika z'embaawo mwe nfuna ssente

Wanikaamaguluwebuse11 220x290

Bw'oyamba omuntu azirise nga tonnamutuusa...

By'olina okukola okuyamba omuntu azirise nga tonnamutuusa wa musawo okumutaasa obuzibu obuyinza okumutuukako

Lan1 220x290

Mbogo ne Kibuli beddizza ez'amasomero...

Mbogo ne Kibuli beddizza ez'amasomero mu Badminton

Gr2 220x290

Abagambibwa okutta owa Mobile Money...

Abagambibwa okutta owa Mobile Money babazizza e Zzana