TOP

Premier League eddamu leero

By Musasi wa Bukedde

Added 26th December 2018

LIIGI ya Premier eddamu leero ku Lwokusatu (Boxing Day) era abatendesi ba ttiimu kirimaanyi balabudde abazannyi baabwe obutalya kisukiridde leero ku ssekukulu basobole okuzannya nga tebalina mukuto.

Olesolskjaermanutd1545390447 703x422

Enkya mu Premier;

Fulham - Wolves, 9:30

Burnley - Everton, 12:00

Crystal Palace - Cardif City

Leicester - Man City

Liverpool- Newcastle

ManU - Huddersfield

Spurs - Bournemouth

Watford - Chelsea, 4:30

ManU ekyeswanta Ole Gunnar Solskjaer, agamba nti olutalo lw’okuzza ttiimu engulu baalutandise ku Lwamukaaga nga tayagala bikujjuko bya Ssekukkulu bibaggye ku mulamwa.

Solskjaer, eyasikidde Jose Mourinho, yawangudde omupiira gwe ogusooka ManU bwe baatimpudde Cardiff (5-1) mu Wales.

Guno gwe mupiira gwe ogusooka ku Old Trafford. Sizoni eno, Huddersfield yaakawangula omupiira gumu ku bugenyi.

Man City enyiga biwundu Kyampiyoni Man City eridde Ssekukkulu mu kiyongobero bwe yakubiddwa awaka ku wiikendi.

Yawangudda Crystal Palace (3-2) nga guno gwe gwasoose okukubirwa awaka mu mipiira 15 egya Premier.

ManU ye yasemba okugikubirawo (3-2) mu April. Chelsea nayo eri bubi Chelsea, eyakubiddwa Leicester (1-0) eri wazibu kuba ekyalidde Watford, etenyigirwa mu nnoga ewaayo.

Watford yatimpula Chelsea (4-1) era omutendesi Maurizio Sarri ayagala batandike okukola obulungi ku bugenyi.

Bakubiddwa emipiira 2 ku 5 egisembyeyo. Teri kusumagira - Klopp Jurgen Klopp, atendeka Liverpool alabudde abazannyi be obutasumagira kuba ensolo ku kizigo kw'eri. Liverpool ekyaza Newcastle, etendekebwa Rafael Benitez eyaliko owaayo.

Liverpool y'eri ku ntikko ya Premier nga tennakubwamu mu mipiira 18. Mu sizoni nnya ezisembyeyo, abadde abeera ku ntikko ya Premier ku Ssekukkulu agenze mu maaso n'awangula ekikopo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kola 220x290

Boofiisa ba poliisi Muhangi ne...

EYALI akulira ekitongole kya Flying Squad, Herbert Muhangi abadde amaze emyaka ebiri mu kkomera ng’avunaanibwa...

Na 220x290

‘Mukebere nnamba z’essimu okuzuula...

AKAKIIKO akavunaanyizibwa ku by’empuliziganya mu ggwanga aka Uganda Communication Commission (UCC) kalagidde abakozesa...

A1 220x290

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral...

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral & Cocktail Party’ e Munyonyo ebyana gye byalagidde emisono n’emibiri nga bwe balya...

Afrigo 220x290

Lutalo ekintu akyekwatiddemu

OMUYIMBI w’ennyimba za laavu, David Lutalo (ku ddyo) kirabika akooye bapulomoota okumulyako ssente.

Tege 220x290

Kyokka mwana ggwe Lydia Jazmine!...

MWANAMUWALA Lydia Jazmine abamu gwe bayita muninkini wa gundi yamalayo. Akola bimusanyusa nga tafuddeyo ku bantu...