TOP

Moses Lumala alaze banne ttaaci mu za Festino

By Musasi wa Bukedde

Added 27th December 2018

EYALIKO kafulu w'okuvulumula mmotoka, Moses Lumala yalaze abavuzi b'ennaku zino n'abawagizi nti akyasobola.

Laga 703x422

Mmotoka ya Moses Lumala mu katono

Christakis Fitidis 06:45:5

Arthur Blick Jr 06:45:8

Moses Lumala 06:48:5

Duncan Mubiru 06:57:7

R. Ssebuguzi 06:57:7

Yabadde mu mpaka za Champions Sprint ku Festino City nga December 26.

Kyampiyoni wa NRC (1999 ne 2003) ono ng'ali mu Mitsubishi Lancer Evo IX, yacamudde abalabi era abamu baawuliddwa nga bagamba nti lwaki takomerawo ddala mu mpaka n'azongeramu ebbugumu?

Yasemba okuvuga ku lunaku lwe lumu omwaka oguwedde. "Mmotoka yange yali eyonoonese mu kuziika Charles Muhangi, naye nsobodde okubalagako," Lumala bwe yategeezezza.

Empaka zaawanguddwa Christakis Fitidis, n'afuuka kyampiyoni wa 'Sprint' 2018, ku bubonero 62.

Arthur Blick Jr. yakutte kyakubiri, Lumala kyakusatu, Duncan Mubiru kyakuna ne Ssebuguzi n'amalira mu kyokutaano.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

A1 220x290

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral...

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral & Cocktail Party’ e Munyonyo ebyana gye byalagidde emisono n’emibiri nga bwe balya...

Afrigo 220x290

Lutalo ekintu akyekwatiddemu

OMUYIMBI w’ennyimba za laavu, David Lutalo (ku ddyo) kirabika akooye bapulomoota okumulyako ssente.

Tege 220x290

Kyokka mwana ggwe Lydia Jazmine!...

MWANAMUWALA Lydia Jazmine abamu gwe bayita muninkini wa gundi yamalayo. Akola bimusanyusa nga tafuddeyo ku bantu...

Kuba 220x290

Eyagaba abalongo bange yantamya...

NZE Charles Adwor, mbeera Mukono. Nasisinkana munnange mu 2014 nga nkyabeera e Jinja. Ebiseera ebyo nalina omulimu...

Melon1 220x290

Weyune enkola ya kontulakiti ofunemu...

OKUKOLA kontulakiti n’omuguzi y’emu ku ngeri omulimi n’omulunzi mw’asobola okuyita okufuna akatale k’ebintu bye...