TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Kyetume ne Doves balwanira bifo mu Big League

Kyetume ne Doves balwanira bifo mu Big League

By Musasi wa Bukedde

Added 28th December 2018

OMUTENDESI wa Kyetume FC mu Big League Alex Isabirye mweraliikirivu ng’akyazizza Doves All Stars FC oluvannyuma lwa ttiimu ye okuzannya emipiira emingi wiki eno.

Laga 703x422

Bya GERALD KIKULWE

Ku Ssande mu Big League

Kyetume FC – Doves All Stars FC, Nakisunga

Ku Ssande ewedde Kyetume yaggyamu UPDF FC mu Kikopo kya Uganda Cup ggoolo 3-1, ku lwokuna lwa wiki eno n’ekuba Light SS FC ggoolo 2-0(Big League) ate ku Ssande ezannya Doves All Stars FC ku kisaawe e Nakisunga ekyeraliikirizzaamu omutendesi olw’abazannyi okuba abakoowu kyokka nga balina okuzannya.

Isabirye agamba nti kituufu abazannyi  bazannye emipiira mingi mu bbanga lya wiki emu  era balaga obukoowu naye ekyo tekigenda kubaggya ku mulamwa gwa kulwanirira buwanguzi n’okumalira mu kifo ekyokumwanjo okutangaaza emikisa gy’okwesogga “Super” sizoni ejja.

Ababiri bano bazannyira mu kibinja kya Elgon nga bombi benkanya obubonero (12) wabula Kyetume esinzaako ggoolo bbiri mu kifo ekyokubiri  nga ssinga Doves ewangula eba ewanulayo Kyetume mu kyokubiri.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kip2 220x290

Maama afudde n’abaana be

Maama afudde n’abaana be

Capture 220x290

Eby'abayizi 15 abaagaaniddwa okukola...

Eby'abayizi 15 abaagaaniddwa okukola ebya S.6 biranze

Capture 220x290

Gavumenti yeetaaga obuwumbi 130...

Gavumenti yeetaaga obuwumbi 130 okusasula aba LDU

Capture 220x290

Ekirombe ky'amayinja kibuutikidde...

Ekirombe ky'amayinja kibuutikidde bana

Abamukubantuabeetabyekumukologwokutongozaenkolayapulezidentieyemyoogaemasaka2 220x290

Bakalaatidde abakulembeze okuggya...

Mu nkola eno abakozi b’emirimo egifaanagana baakwekolamu ebibiina by’obwegassi n’okutereka ensimbi nga bino gavumenti...