TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Mayanja atandise okusomesa abaana obukodyo bw'omupiira

Mayanja atandise okusomesa abaana obukodyo bw'omupiira

By Moses Kigongo

Added 3rd January 2019

EYALIKO ssita wa KCC FC ne Cranes, Jackson Mayanja 'Mia Mia' atandise okusomesa abaana obukodyo bw'omupiira.

Boozi 703x422

Mayanja ng'alaga abaana bwe basiba omupiira. Wansi ng'abayigiriza okugutomera.

Agambye nti essira agenda kulissa ku baana okumanya okusiba omupiira n'okugugaba wamu (akawoowo) n'okusala ng'ekigendererwa kya Bannayuganda kuddamu kunyumirwa mupiira baddemu okujjumbira okulaba emipiira naddala egya liigi ya babinywera.

Mayanja eyawangula ebikopo ebingi mu KCC (kati KCCA FC) ne Cranes omwali ne CECAFA, yasangiddwa eggulo e Namboole ng'abangula abaana obukodyo bw'omupiira omuli n'okugutomera.

Bakira ayigiriza abaana okusiba endiba, okuwa bannaabwe paasi mu bwangu n’okukuba ennyanda mu katimba.

Yabasomesez“Nsazeewo okutandika okutendeka n’okuyigiriza bamusaayimuto obukodyo obunaabafuula abazannyi ab'enjawulo mu mupiira gwa Uganda kubanga nkizudde nga bangi abali mu liigi ne Cranes nga babulamu obukodyo obugunyumisa eri abawagizi," Mayanja eyazannyirako Al Masry ne Esperance bwe yategeezezza.

Abaana bano bali mu akademi y'omupiira gye yatuumye Mia Mia Soccer Arcademy.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Got2 220x290

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi...

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi akola ku musujja mu bantu, enkoko n’ebisolo ? Soma wano mu mboozi y'omukenkufu...

Lab2 220x290

Bawadde endowooza ku Ssemateeka...

Bawadde endowooza ku Ssemateeka

Kcca1 220x290

Mutebi awawudde abazannyi be

Lwokutaano, KCCA yeetegekera kuddiηηana ne African Stars ey'e Namibia, mu CAF Champions League e Lugogo. Mu gwasooka,...

Aviv 220x290

Aviv akubye ku mattu

Aviv, eyamenyekera mu kutendekebwa mu Amerika omwezi oguwedde wabula kati ali mu mbeera nnungi ng’era empaka za...

Kip2 220x290

Kkooti ewadde Lukwago obukadde...

Kkooti ewadde Lukwago obukadde 600