TOP

Ttiimu zirwanira bifo mu Big League

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd January 2019

Ng’ebula emipiira ebiri gyokka okuwunzika ekitundu kya sizoni ya Big League ekisooka, ttiimu zirwanira bifo na ntikko ya bibinja.

Dancanssemakulaowakibogawakatingattunkanekapiteeniwaproline 703x422

Dancan Ssemakula owa Kiboga wakati ng'attunka ne Kapiteeni wa Proline ku kkono

Bya GERALD KIKULWE

Leero mu Big League

Kitara FC - Ntinda United FC, Hoima

Bumate United FC - Kira United FC,Bundibugyo

Kiboga Young FC – Doves FC,Kiboga

Kansai Plascon FC -Proline FC,Mukono

Light S.S FC -UPDF FC,Amuria

Nebbi Central FC - Kyetume FC,Nebbi

Entebbe FC - Wakiso Giants FC,Wankulukuku

Doves All Stars FC - Bukedea Town Council FC, Arua

Ttiimu ya Proline FC oluvannyuma lwa likodi yaayo ey’obutakubwamu sizoni eno okumenyebwa wiiki ewedde bwe yakubirwa Kiboga Young FC ggoolo 2-1 ku kisaawe e Lugogo,leero (lwakuna) bakyalidde Kansai Plascon FC nga baagala kw’enunula okulaba nga beddiza entikko y’ekibinja kya Rwenzori.

Ronald Kaweesa amyuka omutendesi agamba nti ekyekango kye baafuna wiiki ewedde ky’abakosa nnyo naye tebalina kwesiba ku byayita wabula okutunuulira omupiira oguddako nga balumba Plascon n’obusungu ate n’obuvumu bungi okulaba nga bafuna obubonero busatu okwongera okutangaaza emikisa gy’okuddayo mu “Super” sizoni ejjja.

“Plascon ttiimu y’amaanyi ate eri waka naye tetugenda kutunuulira maanyi gaayo wabula okuteeka essira ku ngeri gye tufunamu obuwanguzi, kye nzikiriza nti tuvaayo nabwo leero,” Kaweesi bwe yakakasizza.

Wabula Kaweesi yeeraliikiriddemu olw’obuvune bw’abazannyi okuli Ibrahim Ssendi, Ibrahim Wammaanah ne Hakim Kiwanuka abatagenda kuzannya mupiira guno nga newankubadde Sam Kintu abadde ku kibonerezo kya Kkaadi emyufu akomyewo.

Proline yaakubiri n’obubonero 19 mu kibinja kya Rwenzori emabega wa Kiboga Young FC abakulembedde n’obubonero 20.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fut2 220x290

Mao atabuse ne Muwanga Kivumbi...

Mao atabuse ne Muwanga Kivumbi lwa kumugaana

Khingt Kulabako wa UPC afudde

Khingt Kulabako wa UPC afudde

Lip 220x290

Nkumba by'esiba bikutuka e Misiri...

Nkumba by'esiba bikutuka e Misiri

Lab2 220x290

UNEB erangiridde ennaku z'okwewandiisa...

UNEB erangiridde ennaku z'okwewandiisa okukola ebigezo by'omwaka guno

Kab2 220x290

PAAPA Francis alonze Rev. Joseph...

PAAPA Francis alonze Rev. Joseph Oliach Eciru okubeera Omusumba w’e Soroti