TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Proline erwana kudda ku ntikko mu Big League

Proline erwana kudda ku ntikko mu Big League

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd January 2019

Ttiimu ya Proline ekyalidde Kasai Plascon n'ekigendererwa ky'okweddiza entikko y'ekibinja kya Rwenzori mu Big League

Prolineweb 703x422

Duncan Ssemakula owa Kiboga (ku kkono)ng'attunka ne Noordin Ndugwa owa Kiboga Young

Bya GERALD KIKULWE

Lwakuna mu Big League

Kitara FC - Ntinda United FC, Hoima

Bumate United FC - Kira United FC,Bundibugyo

Kiboga Young FC – Doves FC,Kiboga

Kansai Plascon FC -Proline FC,Mukono

Light S.S FC -UPDF FC,Amuria

Nebbi Central FC - Kyetume FC,Nebbi

Entebbe FC - Wakiso Giants FC,Wankulukuku

Doves All Stars FC - Bukedea Town Council FC,Arua

Ng’ebula emipiira ebiri gyokka okuwunzika ekitundu kya sizoni ya Big League ekisooka, ttiimu zirwanira bifo na ntikko ya bibinja.

Proline FC ekyalidde Kasai Plascon ng’eyagala buwanguzi yeeddize entikko y’ekibinja kya Rwenzori. Wiiki ewedde, Proline, ebadde tennakubwamu sizoni eno, yawanguddwa Kiboga Young FC ku ggoolo 2-1, ku kisaawe e Lugogo. Kiboga y’ekulembedde n’obubonero 20, ate Proline mu kyokubiri erina 19.

Ronald Kaweesa, amyuka omutendesi, agamba nti okukubwa kwabakosa nnyo naye kati batunuulidde mupiira guddako balabe nga bafuna obubonero obusatu okwongera okutaangaaza emikisa gy’okuddayo mu ‘Super’ sizoni ejja.

“Plascon y’amaanyi ate eri waka, naye essira tulitadde ku kufuna buwanguzi era nzikiriza nti tugenda kuvaayo nabwo,” Kaweesi bwe yagambye.

Ibrahim Ssendi, Ibrahim Wammaanah ne Hakim Kiwanuka tebagenda kuzannya olw’obuvune, kyokka Sam Kintu abadde ku kkoligo lya kaadi emmyuufu, akomyewo.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Got2 220x290

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi...

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi akola ku musujja mu bantu, enkoko n’ebisolo ? Soma wano mu mboozi y'omukenkufu...

Lab2 220x290

Bawadde endowooza ku Ssemateeka...

Bawadde endowooza ku Ssemateeka

Kcca1 220x290

Mutebi awawudde abazannyi be

Lwokutaano, KCCA yeetegekera kuddiηηana ne African Stars ey'e Namibia, mu CAF Champions League e Lugogo. Mu gwasooka,...

Aviv 220x290

Aviv akubye ku mattu

Aviv, eyamenyekera mu kutendekebwa mu Amerika omwezi oguwedde wabula kati ali mu mbeera nnungi ng’era empaka za...

Kip2 220x290

Kkooti ewadde Lukwago obukadde...

Kkooti ewadde Lukwago obukadde 600