TOP

Kabonge ayomba mu Big League

By Musasi wa Bukedde

Added 4th January 2019

OMUTENDESI wa Entebbe FC Allan Kabonge mu Big League ayombye ne yeekwasa ddifiri Ali Kaddu okwolesa omutindo gw’ekiboggwe Wakiso Giants bwe yabadde ekuba ttiimu ye ggoolo 2-1.

Sima 703x422

Abazannyi ba Wakiso okuva ku kkono,Feni Ali, Hassan Wasswa Dazo, Duff Luboobi, Fahad Kawooya ne Abdu Karim Kasule

Bya GERALD KIKULWE

egyazanyiddwa mu Big League

Kiboga Young FC 0–1 Doves FC

Kansai Plascon FC 1-1 Proline FC

Light S.S FC 0-1UPDF FC

Nebbi Central FC 0-1 Kyetume FC

Entebbe FC 1-2 Wakiso Giants FC

Doves All Stars FC 5-1 Bukedea Town Council FC

Ku Lwokuna mu Big League Wakiso Giants yalumbye Entebbe FC ku kisaawe kyayo (Entebbe) e Wankulukuku n’egisomesa omupiira eddakiika 90 wabula omutedesi Kabonge yeekwasizza ddiifiri okulaga kyekubiira ng’aba ebisobyo ebitaabadde bituufu eky’akubizza ttiimu ye era n’alagyanira FUFA erwanyise ebikolwa bino mu mupiira gwa Uganda.

Kabonge agamba nti obwedda abazannyi ba Wakiso olubakoonako nga ddifiri afuuwa, kyokka bbo bwe bakola ekisobyo ku Entebbe ng’awewa.

“Tetujja kwogera birungi byokka naye tuzannye Wakiso Giants ng’erina abazannyi 12 olwa ddifiri okubanoonyeza ggoolo ng’ayita mu kutusaliriza, nz’era ssiri musanyufu n’akamu,” Kabonge bwe yayombye.

Kabonge ajjukirwa okuyingiza ttiimu ssatu mu “Super” sizoni ssatu eziwedde ez’omuddiringanwa nga mwe muli Onduparaka FC, Masavu FC ne Paidha Black Angels, wabula sizoni eno ttiimu ya Entebbe FC evuya mu liigi.

Wakiso Giants y’ekulembedde ekibinja kya Elgon n’obubonero 19 ate Entebbe FC eri mu kya 8 ku ttiimu 11.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

She1 220x290

Abaafunye akabenje mu Ambulance...

Abaafunye akabenje mu Ambulance baziikiddwa

Rak1 220x290

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye...

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye n'afiirawo e Rakai

Gat2 220x290

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana...

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana akkiriza omusango n'asaba ekisonyiwo

Mut1 220x290

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate...

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate kya Maama Nnabagereka

Mala1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga...