TOP

Nakanyike awangulidde Uganda feeza mu mpaka za Chase

By Silvano Kibuuka

Added 6th January 2019

Nakanyike awangulidde Uganda feeza mu mpaka za Chase

Fub1 703x422

Nakanyike ng'alaga omudaali

Musaayimuto Maria Nakanyika amenye likoda bw’awangulidde Uganda omudaali gwa Feeza ogusoose mu mpaka za Chess wa Africa mu bato abali wansi w’emyaka 20.

Mu mpaka ezimaze ennaku 10 ku woteeri ya J and M Airport Road Hotel e Bwebajja, Nakanyike omuyizi wa P.7 ku St. Mercelina Academy e Matugga Nakanyike asoose kumegga muzannyi wa Botswana, Marape Naledi wadde nga bombi bamalidde ku bubonero 7.

Nakanyike abadde ne likoda ng’era yawangula omudaali gwa feeza mu mpaka za Africa ez’amasomero omwaka oguwedde era nga ye yalondebwa ekibiina kya bannamawulire abawandiika ag’emizannyo ekya USPA ku buzannyi bwa Chess obwa 2018.

Obuwanguzi mu za Africa buwadde Nakanyike ekitiibwa kya Woman Fide Master.

Empaka ziwanguddwa Du Plessis Anika owa South Africa mu bakazi so nga Djabri Massinas owa Algeria n’akwata ekyokusatu.

Uganda yayingizza abazannyi 13 mu mpaka zino nga mu balenzi, Richard Kato ku bubonero 5.0 y’asinze okukola obulungi bw’amalidde mu kyomukaaga n’addirirwa Abel Matovu (4.5) ne Emmanuel Musasizi ku 4.0).

Abawanguzi abasatu mu bakazi n’abasajja bagenda kukiikirira Africa mu mpaka z’ensi yonna mu India mu August omwaka guno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

She1 220x290

Abaafunye akabenje mu Ambulance...

Abaafunye akabenje mu Ambulance baziikiddwa

Rak1 220x290

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye...

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye n'afiirawo e Rakai

Gat2 220x290

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana...

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana akkiriza omusango n'asaba ekisonyiwo

Mut1 220x290

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate...

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate kya Maama Nnabagereka

Mala1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga...