TOP

Abazannyi ba Taekwondo baweereddwa obukodyo bw'okwerwanako

By Silvano Kibuuka

Added 6th January 2019

Abazannyi ba Taekwondo baweereddwa obukodyo bw'okwerwanako

Dab2 703x422

ABADUKANYA omuzannyo gwa Taekwon Do nga bayitira mu kibiina kya ITF Uganda Association batandise okubangula abakazi mu kukozesa omuzannyo guno okwetaasa ku bantu ababa babalumbye okubatuusaako obulabe.

Bakolaganye n’abakugu abaddukanya omuzannyo guno ku lukalu lwa Africa mu kibiina kya ITF Africa Taekwon Development Proram nga kafulu Maseter Niklas Enander enzaalwa ya Sweden y’akulidde okutendeka kuno.

Amakanda bagasimbye ku ttendekero lya Police e Kibuli ng’abakazi abasoba mu 60 be babanguddwa okuva nga December 28 nga bayitira mu kiraabu ezizannya Taekwon Do mu Uganda.

“ITF twagala kutaasa abakazi abatulugunyizibwa mu nsi yonna. Tutandika na kubayigiriza bukodyo wabula abakyali abato bwe banyumirwa batandika okuzannya okuvuganya nga bayingira mu makiraabu agatali gamu”, Master Niklas bw’ategeezezza.

Yasoose kubangula abagenda okutendeka nga 26 bannayuganda, babiri okuva e Twanzania ne Burundi ate omu avudde Kenya.

Atikkidde n’abazannyi bana abatuuse ku ddaala lya Black Belt nga kati ttiimu ya Uganda egaziye okufuna abazannyi abasobola okukiikirira eggwa mu mpaka za World Championships omwaka guno mu ggwanga lya Girimaani mu July.

Bwe yali akyali omumyuka wa Pulezidenti, Dr. Specionza Wandira Kazibwe yakuunga abakazi okuyiga Taekwon Do okusobola okwetaasa ku basajja ababajooza wabula n’avumirirwa nnyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Got2 220x290

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi...

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi akola ku musujja mu bantu, enkoko n’ebisolo ? Soma wano mu mboozi y'omukenkufu...

Lab2 220x290

Bawadde endowooza ku Ssemateeka...

Bawadde endowooza ku Ssemateeka

Kcca1 220x290

Mutebi awawudde abazannyi be

Lwokutaano, KCCA yeetegekera kuddiηηana ne African Stars ey'e Namibia, mu CAF Champions League e Lugogo. Mu gwasooka,...

Aviv 220x290

Aviv akubye ku mattu

Aviv, eyamenyekera mu kutendekebwa mu Amerika omwezi oguwedde wabula kati ali mu mbeera nnungi ng’era empaka za...

Kip2 220x290

Kkooti ewadde Lukwago obukadde...

Kkooti ewadde Lukwago obukadde 600