TOP

Ab'emyaka 17 baakuvuganya mu CECAFA wa under 20

By Musasi wa Bukedde

Added 7th January 2019

Ab'emyaka 17 baakuvuganya mu CECAFA wa under 20

Kab1 703x422

Bya Joseph Zziwa 

TTIIMU Y’eggwanga eri wansi w'emyaka 20 the KOBS eri mu kutendekebwa okwa kaasa meeme nga Uganda yetegekera okukyaza empaka za CECAFA U20 ezitandika nga 14 omwezi guno.

Ttiimu yatandise okutendekebwa ku lw’okutaano ku kisaawe kya FUFA e Njeru kwossa n’ekya Kirinnya Jinja SS wansi wa Jackson Magera omutendesi wa KCCA eyabato ng’amyuukibwa Hamza Lutalo ne Mubaraka Kiberu nga omutendesi w’abakwasi ba goolo.

Okusinziira ku addukanya omupiira gw’abaana mu FUFA Bashir Mutyaba,ttiimu y’abazannyi 31 yeyalondeddwa kyokka abasinga bali wansi wa myaka 17 wadde nga empaka za Under 20.

Mutyaba agamba kino kyakoleddwa olw’okuba nti Uganda Yasobola okukiika mu mpaka za CECAFA U17 omulundi ogusoose ezigenda okutandika mu mwezi gwa May mu gwanga lya  Tanzania,kale baalabye nga bwebakozesa abazannyi bebamu mu U20 kyakuyamba abaana bano okwongera okumanyiira okuvuganya ku mutendera gw’ensi batuuka mu Tanzania nga boogi.

 

Ono agamba okusinziira ku mutindo bano gwebaayolesa bwebaawangula ekikopo mu mpaka za CEACAFA U17 ez'okusunsulamu omwaka oguwedde,FUFA ekakasa nti basobola okuvuganya obulungi mu U20 kwossa n’okuzannya obulungi mu Tanzania basobola okukiika mu z’ensi yonna ezinaabera e Peru mu October w’omwaka guno.

Empaka zino zakumala wiiki bbiri nga zakuzannyirwa mu bisaawe ebiri mu Jinja ne Gulu era amawanga 11 gegakakasiddwa okwetaba mu mpaka zino nga kuliko Kenya,Tanzania,Somalia,Rwanda,Burundi,Eritrea,Djibout,Ethiopia,Sudan,South Sudan ne Uganda nga omutegesi 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Khingt Kulabako wa UPC afudde

Khingt Kulabako wa UPC afudde

Lip 220x290

Nkumba by'esiba bikutuka e Misiri...

Nkumba by'esiba bikutuka e Misiri

Lab2 220x290

UNEB erangiridde ennaku z'okwewandiisa...

UNEB erangiridde ennaku z'okwewandiisa okukola ebigezo by'omwaka guno

Kab2 220x290

PAAPA Francis alonze Rev. Joseph...

PAAPA Francis alonze Rev. Joseph Oliach Eciru okubeera Omusumba w’e Soroti

Gav't eyimirizza okugabira abantu...

Gav't eyimirizza okugabira abantu emmere egambibwa okutabula Bannayuganda emitwe