TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Misiri y'erondeddwa okutegeka eza AFCON 2019

Misiri y'erondeddwa okutegeka eza AFCON 2019

By Stephen Mayamba

Added 8th January 2019

MISIRI erondeddwa okutegeka empaka z’omupiira z’amawanga ga Africa ez’akamalirizo eza Africa Cup of Nations 2019.

Cranescapeverde7 703x422

Patrick Kaddu eyateebye ggoolo eyayisizamu Uganda okuzannya mu mpaka za Africa ez'akamalirirzo omulundi ogw'okubiri ogw'omuddiringanwa ng'akulemebeddemu bane okuwaga. (STEPHEN MAYAMBA)

Misiri okuweebwa olukusa ewangudde South Africa bwe bawaayo okusaba bazitegeke oluvanyuma lw’eggwanga lya Cameroon eryari lyasooka okuweebwa olukusa okulugibwako olwentekateeka mu ggwanga eryo okutambula akasooba ab’ekibiina ekiddukanya omupiira muu Africa ekya Confederation of African Football (CAF) ne bafunamu okutya nti eyinza okuba teyetegese mu June empaka lwezigenda okuzannyibwa.

Okusalawo Misiri etegeke kutuukiddwako leero mu lutuula lw’akakiiko ka CAF ak’oku ntikko olutudde enkya ya leero mu kibuga Dakar ekya Senegala awagenda okubeera omukolo gw’okugaba engule z’abazannyi basinga banaabwe mu mwaka 2018.

Uganda yayitamu dda okwetaba mu mpaka zino oluvanyuma lw’okukulembera ekibinja L mweri ne Tanzania, Cape Verde ne Lesotho yadde ng’ebuzaayo omupiira gumu. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Benitez22 220x290

Benitez munyiivu olwa Newcastle...

Newcastle yeggyeeko omutendesi Benitez oluvannyuma lw'endagaano ye okuggwaako.

Oketchinstructinghisstudentswebuse 220x290

Oketch obwavu abugobye na kukola...

Mu kukola fulasika z'embaawo mwe nfuna ssente

Wanikaamaguluwebuse11 220x290

Bw'oyamba omuntu azirise nga tonnamutuusa...

By'olina okukola okuyamba omuntu azirise nga tonnamutuusa wa musawo okumutaasa obuzibu obuyinza okumutuukako

Lan1 220x290

Mbogo ne Kibuli beddizza ez'amasomero...

Mbogo ne Kibuli beddizza ez'amasomero mu Badminton

Gr2 220x290

Abagambibwa okutta owa Mobile Money...

Abagambibwa okutta owa Mobile Money babazizza e Zzana