TOP

Mike Mutebi ne Ssimbwa bayitiddwa FUFA

By Hussein Bukenya

Added 8th January 2019

Mike Mutebi, atendeka KCCA FC ne Sam Ssimbwa owa URA FC, bayitiddwa mu kakiiko ka FUFA akakwasisa empisa

Mutebiweb 703x422

Mike Nutebi (ku kkono) ne Sam Ssimbwa

FUFA eyise Abalangira Mike Mutebi ne Sam Ssimbwa bannyonnyole ku bye bagamba nti waliwo abagulirira emipiira.

Deo Mutabazi, akulira akakiiko akakwasisa empisa mu mpaka ezitegekebwa FUFA, (FUFA Competitions Disciplinary Panel) yategeezezza nti bano baayogedde ebigambo ebiteeka omupiira mu katyabaga, era balina okunnyonnyola obutuufu bwabyo.

Mutabazi yannyonnyodde nti  Mutebi alina okweyanjula mu kakiiko kano ku ssaawa 4:00 ku makya ku Lwokusatu, ate Ssimbwa yeeyanjule ku Lwokuna ku ssaawa zezimu.

Gye buvuddeko, Mutebi yategeeza abaamawulire nga bwe waliwo abantu abaaguliriranga emipiira ne bawangula ebikopo era buli yakiwangula mu myaka 20 egiyise yayita mu nkola eno.

Ye Ssimbwa ku Lwomukaaga yasinziira mu lukiiko lw’abamawulire e Jinja, n’ategeeza nga baddiifiri bwe baali bamulamudde obubi era nti balabika babaguliridde.

Guno gugenda kuba mulundi gwakubiri nga Ssimbwa agenda mu kakiiko kano ng’ogwasooka omusango gwamusingirayo n’akaligibwa emyezi munaana nga teyeenyigira mu kutendeka ttiimu yonna.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oketchinstructinghisstudentswebuse 220x290

Oketch obwavu abugobye na kukola...

Mu kukola fulasika z'embaawo mwe nfuna ssente

Wanikaamaguluwebuse11 220x290

Bw'oyamba omuntu azirise nga tonnamutuusa...

By'olina okukola okuyamba omuntu azirise nga tonnamutuusa wa musawo okumutaasa obuzibu obuyinza okumutuukako

Lan1 220x290

Mbogo ne Kibuli beddizza ez'amasomero...

Mbogo ne Kibuli beddizza ez'amasomero mu Badminton

Gr2 220x290

Abagambibwa okutta owa Mobile Money...

Abagambibwa okutta owa Mobile Money babazizza e Zzana

Hat1 220x290

Ebivuddeko ettemu okweyongera

Ebivuddeko ettemu okweyongera