TOP

KCCA bataka mu Congo Brazzaville

By Hussein Bukenya

Added 12th January 2019

OMUTENDESI wa KCCA Mike Mutebi yagenze agumizza abawagizi ba ttiimu eno nti alina abazannyi abasobola okuwangulira omupiira mu Congo Brazzaville.

Mikemutebi703422 703x422

Omutendesi wa KCCA FC, Mike Mutebi

Ssande mu CAF Confederations Cup AC Otoho - KCCA, e Congo

KCCA yasitudde eggulo ku Lwokutaano ku makya, okwolekera Congo Brazzaville, gy'egenda okuttunkira ne AS Otoho mu za CAF Confederations Cup, ku Ssande.

Ttiimu eno yasitudde n’ekibinja ky'abantu 32, mu nnyonyi ya Rwanda Air, nga kuliko abazannyi 18. 

Mutebi yaweze okudda n’obuwanguzi kuba agenda kulumba okutuusa lw'anaafuna ggoolo ezinaamutuusa ku kino.

Ebigambo bya Mutebi byongera okweyolekera mu bazannyi be yatutte kuba abasinga basobola okuzannya omupiira gw’okulumba.

Bano kuliko; Julius Poloto, Allan Okello, Muzamir Mutyaba, Mike Mutyaba, Allan Kyambadde, Jackson Nunda, Gift Ali, Patrick Kaddu n’abalala. Mutebi yagambye nti abazannyi bano buli omu asobola okumuteebera ggoolo era mugumu nti bagenda kukikola.

“Omupiira gw'okuzibira gwasigalira mu ttiimu eziteekakasa kye zikola naye KCCA ezannya gwa kuwangula,” Mutebi bwe yategeezezza nga tebannasitula.

Abalala abaageenze kuliko; Charles Lukwago, Jamil Malyamungu, Filbert Obenchan, Hassan Musana, Mustafa Kizza, Lawrence Bukenya, Isaac Kirabira n’abalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kuba 220x290

Bamulumirizza okwokera mukazi we...

OFIISA wa poliisi ategeezezza kkooti y’omulamuzi Agnes Alum e Nakawa nga Mohammed Kateregga avunaanibwa omusango...

Pata 220x290

'Bawala bange bankuba ne bannyiga...

TAATA alumirizza bawala be okumukuba ne bamunyiga obusajja okukkakkana nga bamulaaye.

Ssengalogo1 220x290

Ayagala tuddemu omukwano

n’awasa omukyala omulala ne bazaala n’abaana. Naye kati yakomawo gyendi nti ayagala kumpasa era ampangisize ennyumba...

Hab2 220x290

Abadde yeyita owa URA n'afera abantu...

Abadde yeyita owa URA n'afera abantu bamugombyemu obwala

Mutaka 220x290

Omutaka w’e Salaama eyalaama okumuziika...

MUSAJJAMUKULU awuniikirizza mukyala we, abaana n’abooluganda bwe babaggyiddeyo ekiraamo okukibasomera nga yalaama...