TOP

Eya Tunisia terina ky'etusinga - Vipers

By Hussein Bukenya

Added 12th January 2019

KANO ke kaseera okukola ebyafaayo. Tugenda kulaga Bannayuganda nti twazze tumazeeko era abawagizi baffe bakeere balinde okulaba omupiira omunyuvu.

Vipers 703x422

Ttiimu ya Vipers eyatandise omupiira gwa Onduparaka mu liigi ku Lwokubiri. Vipers yawangudde 3-0.

Lwamukaaga mu CAF Confederations Cup, e Kitende Vipers - Sfaxien, 10:00

Bino bye bigambo Munnakenya, Michael Ouma, atendeka Vipers bye yayogedde ku nsiike yaabwe ne Sfaxien (Tunisia) mu mpaka za CAF Confederations Cup, e Kitende leero ku Lwomukaaga.

Ttiimu zombi zirwana kwesogga bibinja bya mpaka zino, ng'anaakola obulungi mu nzannya zombi y'ayitawo mu bibinja butereevu.

Ouma agamba nti Sfaxien ebasinga kimu, kya kuyisa budde, naye mu mupiira benkana kuba buli omu mu liigi ye akola bulungi. “ Ku kisaawe tugenda kuzannyisa abazannyi 11 buli ludda, era siraba nsonga lwaki tubatya.

Twetegese ekimala era abantu basuubire omupiira omunyuvu,” Ouma, eyasikidde Martinez Espinosa bwe yagumizza abawagizi.

Yayongeddeko nti ekirungi kye balina omupiira guno baguyingiddemu bakimanyi nti ttiimu z’Abawalabu zibeera n’abazannyi abeesuula n’abalabula nti bagenda kubanogera eddagala, kuba tebaagala kuyisa budde bwonna okutuusa nga bafunye obuwanguzi.

Bw'otunuulira liigi y'e Tunisia ekifaananyi ky'ofuna ku Sfaxien kya ttiimu eteri nteebi nnyo, wabula mu kuzibira ekwata kisooka.

Okufaananako ne Vipers etennakubwamu mupiira gwonna mu liigi, ne Sfaxien tennakubwamu, sso ng'era y'ekyasinze okuteebwa ggoolo entono (3 mu mipiira 11).

Embeera eno etegeeza nti abateebi ba Vipers okuli Dan ‘Muzeeyi’ Sserunkuuma, Tito Okello, Davis Kasirye, Abraham Ndugwa n’abalala, balina okukola ennyo okuwaguza ekisenge kya ttiimu eno.

Omukisa Vipers gw'erina gwa kuba nti Sfaxien mu mpaka zino emipiira gyayo esatu egisembyeyo ku bugenyi ebadde ekubwa.

Okutuuka ku luzannya luno yawanduddemu Green Buffaloes eya Zambia ku mugatte gwa 4-2. Wabula ggoolo zonna yazifunira ku butaka, kuba bwe yagenda e Zambia baagikuba 1-0. Kuno ssaako ne FUS Rabat eyagikuba 1-0 sizoni ewedde.

OBUMANYIRIVU

Sfaxien yaakawangula ekikopo kino emirundi esatu (2007, 2008 ne 2013), sso nga mu 2010 baagikubira ku fayinolo.

Vipers terina bumanyirivu kuba tewali kye yali ekoze, bw'ossaako eky'okuba nti omwaka guno yaakawangula omupiira gumu gwokka ku ena mu za Afrika.

Kyokka Ouma yagambye nti alina abazannyi abalungi; okuli Taddeo Lwanga, Moses Waiswa, Sserunkuuma, Geoffrey Wasswa, Halid Lwaliwa n’abalala, abasobola okumufunira obuwanguzi.

OWA SFAXIEN AWERA

Nga baakatuuka mu Uganda ku Lwokuna, omutendesi wa Sfaxien, Ruud Krol, yategeezezza abaamawulire nti tebazze kuyisa bivvulu, wabula beetaaga bubonero bubatwala mu bibinja.

“Tuzze tukimanyi nti Vipers omupiira guno egwetaaga nnyo, naye naffe tugenda kuteekawo omutindo ogumatiza, era okumanya obuwanguzi tubwetaaga tewali kuzibira,” Ruud bwe yategeezezza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kuba 220x290

Bamulumirizza okwokera mukazi we...

OFIISA wa poliisi ategeezezza kkooti y’omulamuzi Agnes Alum e Nakawa nga Mohammed Kateregga avunaanibwa omusango...

Pata 220x290

'Bawala bange bankuba ne bannyiga...

TAATA alumirizza bawala be okumukuba ne bamunyiga obusajja okukkakkana nga bamulaaye.

Ssengalogo1 220x290

Ayagala tuddemu omukwano

n’awasa omukyala omulala ne bazaala n’abaana. Naye kati yakomawo gyendi nti ayagala kumpasa era ampangisize ennyumba...

Hab2 220x290

Abadde yeyita owa URA n'afera abantu...

Abadde yeyita owa URA n'afera abantu bamugombyemu obwala

Mutaka 220x290

Omutaka w’e Salaama eyalaama okumuziika...

MUSAJJAMUKULU awuniikirizza mukyala we, abaana n’abooluganda bwe babaggyiddeyo ekiraamo okukibasomera nga yalaama...