TOP

Tubulamu okujanjawaza Denis Onyango

By Musasi wa Bukedde

Added 12th January 2019

KU Lwokusatu, waliwo eyankubidde essimu gwe sigenda kwatuukiriza, naye kye mmusaba nti taddangamu okumbuuza ebitazimba.

Img20190109wa00011 703x422

Yakubye ku ssaawa 11:00 ku makya n'abuuza nti; Wamma Onyango, awangudde engule ya Afrika alina emyaka emeka? Tayingidde 47? Tutendeke abaana okufaayo ku nsonga enkulu, ate nga ntuufu.

Ndi muwagizi wa Bungereza naye Uganda Cranes lw'erigenda mu World Cup nga mbata nga bwe nava ku Nigeria mu za Afrika, kuba kati tubeerayo.

Ekimpagiza Bungereza si lwakuba nzikiriza nti liigi yaabwe y'esinga, naye lwakuba baagala nnyo ensi yaabwe.

Omuzannyi waabwe ateekeddwa okuba nti y'asinga okuzannya omupiira, ggwe abawakanya ggwe amanyi.

Kino bakifunyeemu nnyo kubanga abazannyi baabwe ba bbeeyi nnyo, eky'okuba nti ba kibogwe si nsonga.

Ne liigi yaabwe bagitunze n’emanyika nnyo lwa kugyagala.Bwe bafunayo Rooney, Owen oba Harry Kane, ateekwa okuba ng'agucanga okusinga Pele, Maradona aba Zinedine Zidane.

Mu Tanzania, Ethiopia ne South Afrika Onyango gy'agusambira mu Mamelodi Sundowns, bafuba okulaba nga bamwesembereza mu ngeri yonna, asobole okubeera ekyokulabirako eri abaana baabwe, oba oli awo nabo bafuuke nga ye, n'amawanga gaabwe gayitimuke.

Mu Uganda bakukubira masimu agabuuza ebitaliimu nsa. Omuwereeza w’emizannyo ku ttivvi emu e Kenya, yeekaza nga yenna bw'akanudde amaaso, n'agamba nti; Denis Onyango azaalibwa kumpi wano ,kiromita nnya zokka okuva ku nsalo yaffe.

Yali ku kyalo kye bayita Maili Munana e Busia, era mu kwogera kwe kwonna yeeyambisa ng'erinnya lya Onyango erya Osinde mu bugenderevu. Bannange twagale nnyo Uganda kubanga abakanudde amaaso bangi .

Onyango ye kapiteeni wa Cranes, era ye yekka agucangira ku Ssemazinga Afrika eyalondeddwa ku ttiimu ya kabiriiti.

Nga yaakamala okuwangula, yagambye nti bw'okkiriza Mukama tosobola kulemererwa.

Kino kituufu nnyo era abantu nga ye eggwanga lirina okubeeyambisa okutuzzaamu amaanyi.

Bannakenya bagamba yagusamba nga n'emmunyeenye zaabwe nga Oscar Kadenge e Tanzania mu Yanga SC! ate mu Mamelodi basaba ttiimu z'e Bulaaya okugendayo baziguze bamusaayimuto, nga Onyango.

Mu Uganda tugamba ki? Tukyabulamu nnyo okussa akajanja mu bintu. Sigaanyi omukulembeze w’eggwanga, Pulezidenti Museveni yamuyozaayozezza, ne Sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga n'ayogera, naye kibulamu.

Ekya Onyango okuwangula kitegeeza nti Uganda erina ekigatta abantu bonna, kyesinga okukola obulungi mu Afrika.

Kitegeeza nti omwana wange, owuwo ne bazzukkulu baffe, ne bwe waliyita emyaka 50, balibeera n’enkizo ku kuvuganya ku bukwasi bwa ggoolo, nga bajuliza nga Uganda bw'evaamu baggoolokipa abalungi.

Ttiimu za West Afrika kye tuzisinga kubanga bajjukira Okocha, Roger Milla, Kanu n’abalala.

Eno ensonga ya maanyi nnyo kubanga  ffenna tulina okuganyulwa mu buwanguzi bwa Onyango leero oba enkya.

Abalambuzi, abakugu abanoonyereza ku mizannyo ne bamusigansimbi, kibabeerera kyangu okukyalira Uganda olw’obuwanguzi bwa Onyango.

Abazannyi bali babiri bokka mu byafaayo, abaakola Onyango kyakoze kasookedde ngule eno essibwawo mu 1970.

Bombi Bamisiri, Mohamed Barakat (2005) ne Mohamed Aboutrika 2008.

Naye ku lwange, Onyango y'asoose kubanga Abamisiri abo Liverpool, Chelsea, AC Milan ne Tottenham, zaabakansa, naye Omuwalabu n'abawa ssente nnyingi okusinga Omuzungu, ekitegeeza nti baali ku ddaala ddala nnyo.

Oba muntegedde bulungi? Ekintu kya Onyango kibulamu okujanjawaza n’okuteeka ku mwanjo ffenna tukiganyulwemu.

Amazima tulekere awo okujajaata, okuwaana, okusuusuuta, kw'ossa n’okutunda, naffe bannamawulire tubigonnomola ku bantu abatasaana ne tuleka abaffe.

itegusulwa@newvision.co.ug 0751416587

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fot2 220x290

Omucuula guyamba ku lubuto olwesibye...

Omucuula guyamba ku lubuto olwesibye

Kab3 220x290

Owoolubuto weekwate ekiyondo okutereeza...

Owoolubuto weekwate ekiyondo okutereeza emmeeme

Gat2 220x290

Abayizi n’abaana nabo basobola...

Abayizi n’abaana nabo basobola okulumirirwa abalala mu kisiibo

Wab2 220x290

Nja kufiira ku babba eddagala -...

Nja kufiira ku babba eddagala - Ssentebe

Fut2 220x290

Omusawo bamukutte kufera bantu...

Omusawo bamukutte kufera bantu