TOP

Aba Buganda Road bagenze bawotose

By Moses Kigongo

Added 14th January 2019

Abazannyi ba Buganda Road FC baavudde ku kisaawe ng'ennyindo y'enkata oluvannyuma lwa Najja okubayunga mu liigi ya ligyoni ya Kampala

Bugandaweb 703x422

Mickdad Ssennyonga owa Buganda Road (ku ddyo) ng'agaba omupiira mu maaso ga Mark Kigongo owa Najja.

ABAZANNYI ba ttiimu ya Buganda Road katono baffe ennaku oluvannyuma lwa  Najja FC okubasuuza obubonero mu maaso g’abawagizi baabwe.

Bino byabadde mu mpaka z’ekibinja ekyokunaekya Kampala ku Ssande, Najja bwe yavudde emabega okufuna ggoolo eyeenkyenkanyi mu ddakiika ezisembayo, n’elemesa bannyinimu obubonero 3 bwe baabade banoonya mu mupiira guno.

Buganda Road, etendekebwa eyaliko ssita wa Express, Francis Gonzaga, yayingidde ekisaawe ng’enoonya buwanguzi, esobole okuwa ku bawagizi baayo essanyu, era omupiira olwabadde okutandika n'etandikirawo okukola ennumba ez’okumukumu, ekitundu ekisooka ne kikomekkerezebwa nga bakulembedde  ggoolo 1-0.

Embeera eno yasanyusiza abawagiza nga bagamba nti ensolo ku kizigo kw'eli, wabula ebigambo byabakalidde ku matama, Najja bwe yateebye eyeekyenkanyi mu ddakiika ey'e 85.   

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Det23 220x290

Ennyonja y’emmotoka etangira Coronavirus...

Ennyonja y’emmotoka etangira Coronavirus

Tap22 220x290

Abasomesa abatali ba Pulofeesa...

Abasomesa abatali ba Pulofeesa ku yunivasite bawadde obukwakkulizo

Lab15 220x290

Okukuza olunaku lw’abajulizi, June...

Okukuza olunaku lw’abajulizi, June 3

Kit1 220x290

Batutte omulambo ku disitulikiti...

Batutte omulambo ku disitulikiti lwa kubamma bbaluwa

Kit1 220x290

Omuzungu eyasobya ku atanneetuuka...

Omuzungu eyasobya ku atanneetuuka akwasizza abazadde