TOP

Nnannyini Kira Young ayagala ntebe ya Magogo

By Hussein Bukenya

Added 14th January 2019

Okuva Kira Young bwe yasaanawo, nnannyini yo, Jimmy Lukwago abadde takyenyigira nnyo mu nsonga za mupiira. HUSSEIN BUKENYA yamuguddeko n’amubuulira ekyamubuza.

Funa1 703x422

Lukwago ne mukyala we Clare nga bamema ku Lwomukaaga. ku kkono ge maka gaabwe.

NZE nzekka asobola okutumbula omupiira gwa Uganda okuva ku mutendera ogumu okudda ku mulala. 

Mu kaseera kano, abantu balaba ng’omupiira ogukula, naye tebamanyi nti waliwo abalala abalina obukugu okugutwala ku ddaala eddala, ttiimu zaffe ne zituuka ne mu World Cup. 

Mu 2015 omupiira naguwummula nga waliwo abantu abagulimu olw’ensonga zaabwe ezitali za mupiira, era mu kiseera kino nneekolera mirimu gyange. 

We nawummulira omupiira kumpi nnali mpaddeyo buli kyange, wabula oluvannyuma naloka ne nziramu, era kati ebigendererwa byange biwanvu nnyo mu mupiira.  Nga nnaakava mu mupiira, natandika okuzimba amayumba mu munisipaali y'e Kira n'ekigendererwa ky'okugatunda oba okugapangisa. 

Kino kyankolera era gye nasooka okuzimba nagiguza eyali kapiteeni wa Cranes, Ibrahim Sekaggya.

Naye olw'okuba omupiira gwali gwannemeramu, nnakola endagaano n'abazannyi abamu, ne nfuuka kitunzi waabwe, era nga mbalabirira mu buli kimu. 

Nakwata Richard Kasagga, Baker Lukoya, Brian Nkuubi, Israel Emuge, Derrick Tekkwo n’abalala, nga nze mbalinako obuyinza okubatunda era kyankolera kuba n’okutuusa kati bandeetera ku ssente. 

Mu kiseera kino sirina ttiimu ya nkalakkalira, wabula buli ttiimu eri mu kitundu kyaffe, okutandikira ddala ku zizannya liigi za wansi, ngiyamba.

Nnina ekiruubirirwa ky’okufuna ettaka nzimbe ekisaawe ky'omupiira ekinene, wamu n'ebyemizannyo emirala ng'okubaka, volleyball, n’emirala.  Ng'enda kuddamu nkole ttiimu y’omupiira etegenda kukoma kweyagaza bantu ba mu Kira bokka, wabula eggwanga lyonna. 

Bwe nnaamala bino, hhenda kutunuulira entebe ya FUFA. Omupiira ngwagala nnyo kuba ngukuliddemu okuviira ddala nga nkyali ku kyalo kyaffe ekya Nsasa, mu Kira. 

Saaguzannya wabula kye nzijukira bwe nnamaliriza okusoma e Makerere, nadda ku kyalo ne njagala okuguzannya kyokka ne sisobola kufuna nnamba. 

Wano we nnasalirawo okutandika okuguteekamu ssente kuba nnali nsoma e Makerere nga bwe nkola n'obwabulooka bw'ettaka.

Natandikira mu kugula Bishop Nankyama mu 2010, ne ngikyusa erinnya n'efuuka Kira Young, ng'etendekebwa Matia Lule mu biseera ebyo. 

Sizoni eyasooka ebintu byagaana kuba twalemwa okugenda mu liigi ya babinywera, eyaddako ne nkansa abatendesi James Magala ne George Ssimwogerere ne bantwala mu 'Super' Mu sizoni eyo, nalina abazannyi okwali Richard Kasagga, Zubair Musunku, Robert Kabanda n’abalala. 

Mu sizoni ya 2014-15, ttiimu yasalwako mu Super, kyokka okugizannyisa mu bannambalujega aba Big League, ne ngivaako.   

BYE MBADDE NSUBWA MU MUPIIRA 

Okuvaawo kwa Kira Young kyampisa bubi nnyo kuba abazannyi baffe baali basobola okufuna emirimu mwe baggya ssente. 

Ekitundu nga kikula kuba buli mupiira abawagizi bangi abaali bakung'aana nga bagula ebintu n’abo abaali baagala okukirambula ssaako ekitundu kyennyini okwongera okuwulikika mu ggwanga lyonna.

Ng’oggyeeko ebyo, Kira yali esobola okuzuula ebitone by’abaana abato ate n’ebazzaayo mu masomero n’ebateerayo ssente basobole okusoma. 

EKIROOTO KY'EBYOBUFUZI 

Ebintu bisatu bye nneetaaga mu bulamu era nja kubituukiriza kuba ntambulira ku Katonda.  Njagala okubeera munnabyabufuzi omugundiivu era mu kalulu akaddako ng’enda kwesowolayo ku mubaka wa Munisipaali y'e Kira nkolerere abantu b’ekitundu mwe nsibuka.

Kino kye njagala okusookerako kuba eby’obukulembeze bisibuka mu nju ewaffe. 

Bakadde bange Derrick Lukanga abadde ku bwassentebe bwa LC ye Nsasa okumala ekiseera, era yazziddwaako, ne mmange, Naalongo Lukwago naye aludde ku bwakkansala w'abakadde mu Kira, era yaakabumalako emyaka 25. 

Ng’oggyeeko ebyo, njagala okubeera pulezidenti wa FUFA, nsobole okwongera ettoffaali mu mupiira, wamu n'okufuuka Canon kuba ebintu by’eddiini mbirimu nnyo.

  Nzimbye ekkanisa nnyingi nnyo okuli; Kitukutwe C/U, Kijabijo C/U, Nsasa C/U, St Peters Bulindo C/U n’endala 17 mu bitundu eby'enjawulo. 

Kuno nnyongerako n’okuyamba mu kuddaabiriza agamu ku masomero agalina obwetaavu mu kitundu. 

NFUNA OMUKYALA 

Mu 2009, nafuna omwagalwa wange Clare Mulwana bwe tubeera mu maka gaffe e Najjeera - Bulabira, e Kira.

Clare ahhumya mu buli kimu ate alina amagezi g’okukola ssente, era ye nsonga lwaki nnasazeewo annyanjule mu bakadde be ku Lwomukaaga (January 12).

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...

Magaya 220x290

Abawala 98 banunuddwa ku babadde...

ABEEBYOKWERINDA banunudde abawala 98 ababadde bakukusibwa okutwalibwa mu nsi za bawalabu okukuba ekyeyo.