TOP

Bamusaayimuto banattunka mu mizannyo

By Musasi wa Bukedde

Added 17th January 2019

Bamusaayimuto e Jinja oluwummula baakulumalako nga basanyufu nga battunka mu mpaka za 'Go Back to School Gala'

Mugoodaweb 703x422

Kansala w'abavubuka mu kibuga ky'e Jinja, Meddie Ntuuyo, ng'akwasa aba akademi ya Manjeri ekikopo. Manjeri ye yawangula empaka z'abali wansi w'emyaka 14 mu Jinja Munisipaali

Bya BRUNO MUGOODA

OLUVANNYUMA lw’okuzannya empaka za Jinja Munisipaali, bamusaayimuto abali wansi w’emyaka 14 beesunze eza Jinja Munisipaali ‘Go back to school Gala’, ezisuubirwa okubeerawo Ssande, ku bisaawe bya Walukuba Tobacco ne Walukuba Community e Jinja.

Omutegesi w'empaka zino, omusumba Fredrick Ojiambo, yategeezezza nti empaka  zaakuyamba bamusaayimuto okumalako oluwummula nga basanyufu .

''Empaka zino zaakuyamba okutumbula ebitone bya bamusaayimuto abatafuna mukisa kulabibwa mu mpaka endala,”' Ojiambo bwe yategeezezza .

Akulira akakiiko akategesi,  Borban Tamale, yategeezezza nti empaka zaakwetabwamu akademi ez’enjawulo okuli; Kiira, Naminya, Reality Wanyange, Grace, Father Baldwin, Two in One , Castilla Soccer Academy, n’endala.

''Ttiimu ebbiri ezinaakulembera zaakuwangula ebikopo n’emidaali, sso ng'endala ezineetabamu zaakuweebwa ebirabo eby'enjawulo,” Tamale bwe yategeezezza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fot2 220x290

Emizannyo gy'abamusaayi muto gyengedde...

Emizannyo gy'abamusaayi muto gyengedde

Kib2 220x290

Sipiika Kadaga azzeemu okukola...

Sipiika Kadaga azzeemu okukola emirimu gye

Sab2 220x290

Kabaka Mutebi ayozaayozezza obwa...

Kabaka Mutebi ayozaayozezza obwa Kabaka bwa Ghana okutuuka ku myaka 20

Got1 220x290

Omusawo bamusse agenze kuziika...

Omusawo bamusse agenze kuziika e Masaka

Gab2 220x290

Ebya dokita gwe basse bikyalanda...

Ebya dokita gwe basse bikyalanda