TOP

Abeebikonde beebugira mpaka za ggwanga

By Musasi wa Bukedde

Added 17th January 2019

Ttiimu z'ebikonde ez'enjawulo ziri mu keetalo nga zeetegekera okwetaba mu mpaka za National Boxing Open Championship ku Lwomukaaga

Babuweb 703x422

Yusuf Babu (ku kkono) owa COBAP ng'atwalira Kenneth Mubaazi owa kiraabu ya Lubya eng'uumi gye buvuddeko

BYA FRED KISEKKA

Kiraabu ez’enjawulo zeebugira mpaka za National Boxing Open Championship ez’omwaka guno, ezitandika ku Lwomukaaga  ku MTN Arena e Lugogo.

William Buyondo, akulira akakiiko akategesi mu kibiina ky’ebikonde mu ggwanga ekya UBF, yagambye nti ku mulundi guno boongedde ebinnonnogo mu mpaka zino, era abawagizi basuubire okulaba ebikonde ebinyuvu.

“Tulinze ffirimbi yokka. Empaka zaakubeeramu ebbugumu kuba abazannyi abasinga bazze balinnyisa omutindo,” Buyondo bwe yategeezezza.

Empaka zigenda kwetabwamu kiraabu ez’enjawulo okuli; Lukanga, UPDF, East Coast, COBAP, KBC, Police, KCCA n’endala.

KCCA ye yasemba okuziwangula mu 2017 lwe zaasemba okuzannyibwa. Omwaka oguwedde tezaaliyo olw’okusika omuguwa okwali mu bakungu ba UBF ab’enjawulo.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Got1 220x290

Omusawo bamusse agenze kuziika...

Omusawo bamusse agenze kuziika e Masaka

Gab2 220x290

Ebya dokita gwe basse bikyalanda...

Ebya dokita gwe basse bikyalanda

Jip1 220x290

Abavubuka ba DP basatu bakwatiddwa...

Abavubuka ba DP basatu bakwatiddwa ku bya Bobi Wine

Kut2 220x290

Amagye gawadde Ssematimba ebiragiro...

Amagye gawadde Ssematimba ebiragiro

Top2 220x290

Omusumba Tumusiime tayagala maka...

Omusumba Tumusiime tayagala maka galimu bizibu