TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Zlatan acoomedde Ronaldo: 'Tolina kapiisi'

Zlatan acoomedde Ronaldo: 'Tolina kapiisi'

By Musasi wa Bukedde

Added 17th January 2019

ABAALIKO ba Sitta ba Man U batabuse omu n’acoomera munne okweyita kafulu nga talina ttiimu nafu mwe yali azannyidde.

105190074ibraronepa 703x422

Zlatan Ibrahimovic eyazannyirako Man U, mu sizoni ya 2016 wansi wa Jose Mourinho y’atabuse ne Cristiano Ronaldo naye eyazannyira Man U okuva mu 2003 okutuuka mu 2009.

Ekitabudde abakulu bano kivudde ku Ronaldo kuvaayo ne yeewaana nga bwali omuzannyi owenjawulo ku balala kuba buli liigi gy’agendamu agyetikka.

Ronaldo mu kaseera kano ali mu Juventus era y’akulembedde abateebi ne ggoolo 14 mu mipiira 19 era omutindo guno gwe gwamuwalirizza okubuukula nti “Tewali ampunyamu, okugenda mu buli liigi n’ositula ttitmu kiraga nti oli muzannyi wanjawulo ku balala”.

Ebigambo bino binyiizizza nnyo Zlatan n’amulumba nti ‘Bwoba oli wa kitalo nga bw’ogamba wali ogenzeeko mu ttiimu ya wansi n’okola ebyamagero nga bwe weewaana?, Zlatan mu kaseera kano ali mu ttimu ya Amerika eya LA Galaxy nga yaakagiteebera ggoolo 22 mu mipiira 27 ky’agamba nti lwaki ye teyeewaana ng’ate asobodde okugisitula nga terina bazannyi ba muzinzi nga bwe guli mu Juventus Ronaldo gy’alimu.

Mpangudde ebikopo kumpi mu buli liigi gye ngezeemu naye sivangayo kwewaana nga nga Ronaldo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fot2 220x290

Emizannyo gy'abamusaayi muto gyengedde...

Emizannyo gy'abamusaayi muto gyengedde

Kib2 220x290

Sipiika Kadaga azzeemu okukola...

Sipiika Kadaga azzeemu okukola emirimu gye

Sab2 220x290

Kabaka Mutebi ayozaayozezza obwa...

Kabaka Mutebi ayozaayozezza obwa Kabaka bwa Ghana okutuuka ku myaka 20

Got1 220x290

Omusawo bamusse agenze kuziika...

Omusawo bamusse agenze kuziika e Masaka

Gab2 220x290

Ebya dokita gwe basse bikyalanda...

Ebya dokita gwe basse bikyalanda