TOP
  • Home
  • Rally
  • Aba ddigi beebugira ziggulawo sizoni

Aba ddigi beebugira ziggulawo sizoni

By Ismail Mulangwa

Added 23rd January 2019

Abavuzi ba ddigi 60 bakakasizza okwetaba mu mpaka ezinaaggulawo sizoni e Garuga

Blickweb 703x422

Arthur Blick Jr( ku ddyo), ng'akuba William Blick akaama

Abavuzi abasoba mu 60 bakakasizza nga bwe bagenda okwetaba mu mpaka za ddigi, eza  ‘Mountain Dew Motorcross Championship’, ku Ssande.

Empaka zino, eza laawundi esooka, ze ziggulawo kalenda ya ddigi, era ziri Garuga ku lw'e Ntebe.

Umar Mayanja, pulezidenti w’ekibiina kya Speedway Motorsports Club, abategesi b'empaka zino, agamba nti abavuzi bonna bamaze okuwawula ebyuma.

" Kano ke kaseera buli muvuzi okulaga ky'alinawo asobole okukuhhaanya obubonero obunaamuyamba okuwangula engule," Mayanja bwe yategeezezza.

Nnantameggwa w'omwaka oguwedde ku mutendera gwa bakafulu (MX1), Arthur Blick, tagenda kuzeetabamu oluvannyuma lw’okulangirira nga bwe yannyuse omuzannyo guno mu 2018.

Empaka zaakulagibwa layivu ku Urban TV, eri wansi wa Vision Group, efulumya ne Bukedde.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bajjo13 220x290

Bajjo asindikiddwa Luzira.

pulomota Bajjo bamusindise mu kkomera e Luzira okutuusa wiiki ejja.

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Sab2 220x290

Yinginiya basanze afiiridde ku...

Yinginiya basanze afiiridde ku ‘sayiti’

Tip2 220x290

bakitammweEyalumbye owa difensi...

bakitammweEyalumbye owa difensi akwatiddwaBasonze