TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Express ereese 5 n’erabula b’evuganya mu liigi

Express ereese 5 n’erabula b’evuganya mu liigi

By Ismail Mulangwa

Added 27th January 2019

MU kaweefube w’okulaba nga ttiimu za Star Times Uganda Premier League zeetegekera ekitundu kya sizoni ekyokubiri ekitandika ku Lwokubiri lwa wiiki ejja, Express FC etandikidde mu ggiya bw’esabuukuludde abazannyi abapya 5 bagiyambeko okumalira mu bifo by’oku mwanjo.

Express 703x422

Kisala n’abazannyi abapya beyaleese; Brian Umony, Ivan Ocholit, Sadiq Ssekyembe, Goffin Geofrey Oyirwoth ne Frank Tumwesigye Zaga.

Express yaakuggulawo ekitundu kya sizoni ekyokubiri ng’ekyalira Tooro United e Fort Portal.

Ttiimu eno, ku Lwokuna yalangiridde abazannyi okuli; Brian Umony (abadde talina ttiimu), Frank Zaga Tumwesigye (Vipers), Sadiq Ssekyembe (Katwe United), Ivan Ocholit (Wembley FC) ne Geoffrey Goffin Oyirwoth (Buddo SS).

Kefa Kisala atendeka Express yayogedde n’obuvumu obw’ekitalo ng’akakasa bwe bagenda okuba ab’enjawulo mu kitundu kya liigi ekyokubiri.

Yagambye nti, abazannyi be yafunye balungi era bagenda kuyamba Express okudda engulu evuganye ku kikopo.

“Liigi ya Uganda eringa misinde gya kafubutuko, asinga okuteekamu amaanyi y’amalira awasava ate gwe bawa ebirabo.

Nga Express tetwagala kusigalira mabega, tulina okuzza erinnya lya ttiimu ku ntikko,” Kisala bwe yategeezezza.

Express eri mu kyamusanvu n’obubonero 21.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Got2 220x290

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi...

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi akola ku musujja mu bantu, enkoko n’ebisolo ? Soma wano mu mboozi y'omukenkufu...

Lab2 220x290

Bawadde endowooza ku Ssemateeka...

Bawadde endowooza ku Ssemateeka

Kcca1 220x290

Mutebi awawudde abazannyi be

Lwokutaano, KCCA yeetegekera kuddiηηana ne African Stars ey'e Namibia, mu CAF Champions League e Lugogo. Mu gwasooka,...

Aviv 220x290

Aviv akubye ku mattu

Aviv, eyamenyekera mu kutendekebwa mu Amerika omwezi oguwedde wabula kati ali mu mbeera nnungi ng’era empaka za...

Kip2 220x290

Kkooti ewadde Lukwago obukadde...

Kkooti ewadde Lukwago obukadde 600