TOP

Mbabara City ewera kuggya bubonero ku Vipers e Kitende

By Hussein Bukenya

Added 27th January 2019

SIZONI eno, Mbarara City ye ttiimu ekyasinze okulinnyisa omutindo mu liigi y’eggwanga eya StarTimes Uganda Premier League.

Vipersvilla19 703x422

Abazannyi ba Vipers nga beetegeka

Leero mu liigi ssaawa 10:00

Vipers - Mbarara City, Kitende

Ogwazannyiddwa

URA 1-1 Vipers

Yaakusatu nga mu mipiira 10 egisembyeyo ewanguddwamu Police yokka n’ekolamu amaliri ga mirundi esatu n’ewangula 6.

Kino kiraga nti ttiimu yeetegesse bulungi era eyinza okuwa Vipers akaseera akazibu leero (Ssande) nga basisinkanye e Kitende mu guggalawo oluzannya lwa liigi olusooka.

Ku Lwokutaano, Vipers yawonedde watono okukubwa URA bwe yavudde emabega ne balemagana (1-1) e Namboole.

Shafiq Kagimu ye yateebedde bannyinimu mu dakiika eya 37 ate Dan ‘Muzeeyi’ Sserunkuuma n’ateebera Vipers mu ya 45.

Mu mupiira guno omutindo gw’abazannyi ba Vipers tegwabadde mulungi era kyalaze omutendesi Michael Ouma nti akyalina omulimu okutereeza ttiimu eno.

Omutendesi wa URA, Sam Ssimbwa teyabadde ku katebe oluvannyuma lwa FUFA okumukaliga emipiira ena ng’egamba nti yakozesa ebigambo ebisosola mu mawanga.

Ouma, yasuubizza abawagizi nti ku Mbarara City agenda kuwangula kuba yeetaaga okusigala ng’atadde puleesa ku KCCA ekulembedde.

KCCA erina obubonero 36 ate Vipers eyookubiri erina 30.

Singa Mbarara ewangula, Vipers ejja kusigala mu kyokubiri nga yeenkana ne Mbarara ku bubonero 30.

Enkizo Vipers gy’erina yaakuba ng’emirundi ebiri gye yakazannya Mbarara City egiwangudde sso ng’era ye yokka etennakubwamu mupiira bukya liigi etandika.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lib2 220x290

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka...

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka kutwala ssabawolereza wa Gavumenti mu kkooti

Web 220x290

Nnaalongo akubye omwana wa muggya...

OMUKAZI atuze omwana wa muggya we n’amutta poliisi n’emutaasa ku batuuze nga baagala kumugajambula.

Kit2 220x290

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa...

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa e Luzira

Hip2 220x290

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa...

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa e Kayunga

Gat2 220x290

Abagambibwa okutigomya Matugga...

Abagambibwa okutigomya Matugga Poliisi ebakutte