TOP
  • Home
  • Ebirala
  • Omutendesi w'Ekika ky'Emmamba agudde mu bintu

Omutendesi w'Ekika ky'Emmamba agudde mu bintu

By Moses Kigongo

Added 28th January 2019

Cyrus Nsubuga, omutendesi wa ttiimu y'Emmamba agonnomoddwaako ekifo mu kika kino

Mambaweb 703x422

Nsubuga (ku kkono), Omutaka Gabuga ne Kigonya Lukolokomba, omu ku bamyuka ba kattikiro b'Ekika ky'Emmamba

Bya MOSES KIGONGO

ABADDE omutendesi wa ttiimu y’Emmamba eya Jjajja Gabunga agudde mu bintu.

Omutaka Gabunga Mubiru Zzikw owa 37, ye yalangiridde Cyrus Nsubuga ku bumyuka bwakatikkiro, mu  lukiiko olw’etabiddwaamu abakulu b’Amasiga n’Emituba egy'enjawulo egikola ekika ky'Emmamba, e Namasuba, ku Lwokutaano.

Nsubuga aweereddwa obuvunaanyizibwa bw’okukwatagana ne Bakattikiro abaaliko okusobola okuzza ekitiibwa ky’Ekika ku ntikko.

Gabunga era yasabye ofiisi ya Kattikiro okumuwanga lipooti buli mwezi, ku ngeri emirimu egy'enjawulo gye giddukanyizibwamu, asobole okugirondoola n’okubawabula.

"Tuli mu kaweefube w’okuzza ekika kyaffe ku ntikko, era kino kye kimparirizza okukolamu enkyukakyuka ku lukiiko olukiddukanya," Zzikwa bwe yategeezezza.

Nsubuga yeebazizza Gabunga olw'okumulinnyisa amadaala, n'awera nga bw'atagenda kumuswaza.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hat12 220x290

Bebe Cool atongozezza Kampeyini...

Bebe Cool atongozezza Kampeyini y'okulwanyisa TB oluvannyuma lw'okusaka ensimbi ezikunukkiriza obuwumbi bubiri...

Freskid10 220x290

Fresh Kid akunze abato okweyiwa...

Fresh Kid akyaddeko ku kitebe kya Vision Group n'akunga abazadde okuleeta abaana baabwe mu kivvulu kya Toto Christmas...

Untitled4 220x290

Ow'emyaka 12 bamusse mu bukambwe:...

ABATEMU abatannategeerekeka bakkakkanye ku mwana abadde yaakawummula ne bamusobyako ne bamutta omulambo ne bagusuula...

Funa 220x290

Recho Rey naye engoye zimusiiwa...

OMUYIMBI Recho Rey yeerabidde okwambala engoye n’agenda mu kivvulu ng’ali mu kawale, akaleega n’agoye akalinga...

Untitled4 220x290

Aba Cryptocurrency babbye abantu...

KKAMPUNI ya Cryptocurrency endala efeze abasuubuzi obutitimbe bwa ssente mu Kampala ababadde bagiddukanya ne badduka...