TOP

Express ekubiddwa Tooro United mu liigi

By Ismail Mulangwa

Added 29th January 2019

Omutendesi Wasswa Bbosa, alaze abaali bakamabe aba Express nti baasubwa zaabu bw'abawangudde ggoolo 1-0.

Policeweb 703x422

Ibrahim Pengere (ku kkono) owa Nyamityobora, ng'attunka ne Juma Balinya owa Police

Lwakubiri mu StarTimes Uganda Premier League

Police 1-4 Nyamityobora

Tooro United 1-0 Express

Egizannyibwa ku Lwokusatu

Mbarara City- KCCA, Mbarara  10:00

BIDCO-Maroons, Njeru  10:30

Abdallah Mubiru atendeka Police, tamatidde mutindo bazannyi be  gwe baayolesezza  nga Nyamityobora ebawuttula  ggoolo 4-1,  mu mupiira gwa StarTimes Premeir League ku Lwokubiri. Omupiira gwabadde mu maka ga Police e Lugogo.

Mubiru yagambye nti tategedde mupiira bazannyi be gwe bazannye kuba babadde mu bya kyanakito, naddala mu kitongole ekizibizi.

Munne, Asafu Mwebaze, atendeka Nyamityoboro, yagambye nti musanyufu nnyo kuba abadde tasuubira nti ttiimu ye, ebadde esingamu abazannyi abapya, ebadde esobola okutuusa kino ku Police.  

“Bwe tunagenda mu maaso n’omutindo guno, ttiimu yaffe ejja kuwona okusalwako,”  Mwebaze bwe yategeezezza.

Nyamityobora, mu ky’e 14 n’obubonero 12, y’emu ku ttiimu ezirwanirira obutasalwako.

E Fort Portal, Tooro yawangudde Express (1-0), omutendesi Wasswa Bbosa ne yeewaana nga bwabadde akisuubira kuba agimanyi (Express) endya n'ensula. Bbosa yatendekako Express. 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kiwa1 220x290

Mukyala w’omugagga Kiwanuka omukulu...

EBYA famire ya Mohan Kiwanuka byongedde okulanda mukyala mukulu bwavuddeyo n’ata akaka ku muggya we gwalumiriza...

Kenzomuzaata 220x290

Fr. Lokodo ayise Muzaata ku by’okujolonga...

MINISITA avunaanyizibwa ku empisa, Faaza Simon Lokodo, ayingidde mu by’omuyimbi Eddy Kenzo ne Sheikh Nuhu Muzaata...

Muza1 220x290

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka...

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka ga Sheikh Muzaata ne bakola efujjo nga bee

Mwana1 220x290

Abafumbo bakwatiddwa lwa kutulugunya...

Poliisi ekutte abafumbo n'ebaggalira lwa kutulugunya mwana.

Mutungo2jpgrgb 220x290

Agambibwa okukuba omuserikale akwatiddwa...

Timothy Lubega 27, ow'e Mutungo akwatiddwa poliisi y’e Mutungo ng'eyambibwako aba LC1 mu kitundu kino. Lubega okukwatibwa...