TOP

Muhoozi awadde abeebikonde obukadde 34

By Musasi wa Bukedde

Added 5th February 2019

ENDUULU yasaanikidde ekizimbe kya MTN Arena e Lugogo ku Ssande, nga mutabani wa Pulezidenti Museveni, Maj. Gen. Muhoozi Kainerugaba azze okulaba empaka z'eggwanga ez'ebikonde (National Open Boxing Championship).

Teeka 703x422

Maj. Gen, Muhoozi ng'awuubira ku bawagizi b'ebikonde e Lugogo ku Ssande.

BYA FRED KISEKKA

Muhoozi, eyabadde omugenyi omukulu mu kuggalawo empaka, yamatidde omutindo ebikonde kwe bituuse n’awaayo 34,500,000/- okugulira kiraabu z'ebikonde 40 ebikozesebwa mu kutendekebwa.

“Mwebale kulaga mutindo musuffu ogutuwadde essuubi nti twandiddamu okwetikka ensi mu bikonde. Pulezidenti Museveni, omu ku bawagizi baabyo lukulwe azze atubuulira engeri ebikonde gye byali eby’amaanyi mu myaka egiyise wabula ndi musanyufu bikomyewo ku maapu,” Muhoozi bwe yagambye.

Yasuubizza n'okutuukirira Pulezidenti balabe engeri gye bagenda okukwatirako ebikonde nga baakusooka na kugulira kibiina kya bikonde (UBF) lingi kikomye okugyeyazika.

Lingi egula doola 7,500 (eza Uganda obukadde 27). Uganda erina lingi ssatu ezaagulwa ku mulembe gwa Amin.

Emu ya NCS, endala ya UPDF ate eyookusatu ekuumibwa kkampuni ya Kirembe Mines kyokka nga zonsatule zikaddiye.

LUKANGA EKOZE LIKODI

Kiraabu ya Lukanga, yawangudde empaka zino omulundi ogwokubiri bukya kibiina kya nsi yonna ekifuga ebikonde (AIBA) kikyusa mateeka gaazo mu 2014 (likodi).

Mu mateeka gano, abaana wakati w'emyaka 14-15 bazannya bokka (Juniors), aba 16-17 nabo bokka (Youth) ate okuva 18 ku 40 ba (Elite).

East Coast yawangula mu 2014, Lukanga mu 2015, UPDF mu 2016, KCCA mu 2017 ate omwaka oguwedde tezaazannyiddwa.

Lukanga yawangudde ekikopo ng’ogasse emitendera gyonna mu bato, abavubuuka n’abakulu mu basajja n’abakazi ku mugatte gwa bubonero 60, n'eddirirwa East Coast (46), Police (30), COBAP (16) ate KCCA ne Kololo zaasibaganye ku 15.

Lukanga yafunye pikipiki, East Coast (sseddume w’ente) ate Police yagenze ne kimeeme w’embuzi . Abazannyi baawereddwa ebirabo eby’enjawulo.

NCS NAYO EGABYE KAVVU

Ssaabawandiisi w'akakiiko akaddukanya emizannyo mu ggwanga (NCS), Dr. Benard Ogwel naye yawadde abawanguzi ku mitendera gyonna 10,000,000/- ate buli kiraabu eyawangudde omutendera yafunye 2,000,000/-.

Abalala abaabaddewo, ye Toyota Nzaire, muto wa Pulezidenti Museveni, ssentebe wa NCS, akulira UBF, Moses Muhangi, n'omubaka wa UN mu ggwanga Rosa Malago, akulira ekitongole kya sirimu ekya UNAIDS, Dr. Kalusa Kiragu, omukungu wa Pepsi, Amos Nzeyi, omuyimbi Bebe Cool n'abalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Got2 220x290

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi...

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi akola ku musujja mu bantu, enkoko n’ebisolo ? Soma wano mu mboozi y'omukenkufu...

Lab2 220x290

Bawadde endowooza ku Ssemateeka...

Bawadde endowooza ku Ssemateeka

Kcca1 220x290

Mutebi awawudde abazannyi be

Lwokutaano, KCCA yeetegekera kuddiηηana ne African Stars ey'e Namibia, mu CAF Champions League e Lugogo. Mu gwasooka,...

Aviv 220x290

Aviv akubye ku mattu

Aviv, eyamenyekera mu kutendekebwa mu Amerika omwezi oguwedde wabula kati ali mu mbeera nnungi ng’era empaka za...

Kip2 220x290

Kkooti ewadde Lukwago obukadde...

Kkooti ewadde Lukwago obukadde 600