TOP

Makumbi atandise na buwanguzi mu Kitara FC

By Musasi wa Bukedde

Added 5th February 2019

OMUTENDESI wa Kitara FC mu Big League Richard Makumbi oluwangudde ogusooka n’awera ng’abwatandise olugendo oluleeta ttiimu eno mu liigi ya babinywera sizoni ejja.

Mafu 703x422

Noordin Bunjo owa Proline wakati ng'awaguza aba Kitara FC

Bya GERALD KIKULWE

Egyazannyiddwa mu Big League

Proline FC 0 –1 Kitara FC

Kira United FC 0–2 Kansai Plascon FC

Doves FC 1–1 Kabale Sharp FC

JMC Hippos FC 0–0 Bukedea T/C FC

Entebbe FC 1–1 UPDF FC

Light SS FC 0–0 Kataka FC

Wakiso Giants FC 3–0 Amuka Brightstars FC

Ku Mmande nga January 21,2019, Makumbi yeegatta ku Kitara FC ng’adda mu bigere bya Edward Golola n’asuubizza okusomosa ttiimu okugiyingiza “Super” nga bwe yakikola mu Mbarara City FC mu 2017 era n’ajuliza ne ttiimu endala nnyingi z’ayambye okuyingira Liigi ya babinywera.

Ku Lwokuna yatandise emirimu mu butongole bwe yakakkanye ku Proline FC bakulembedde ekibinja Kitara mw’eri ekya Rwenzori n’abakomerera omusumaali gwa ggoolo 1-0 ku kisaawe e Lugogo n’akendeeza ku bubonero 8 bwe babadde bamusinga.

Makumbi y’omu ku batendesi bakyasinze okuyamba ttiimu za Big League wano mu ggwanga okwesogga “Super” era nga yakakikola ku ttiimu 10 okuli; Mbarara City FC(2017), Soana FC, UTODA Mityana FC, Bul FC(2011), SC Vipers FC (2006), Fire Masters FC(2005), Buikwe Red Stars FC(2004), Mukono Lions FC(1997), Iganga T/C FC(1996) ne Scoul FC(1995).

“Olugendo ndutandiseeko, kati nsigazzaayo emipiira 9 kye nsuubira nti kisoboka okutuukiriza ekirooto kya ttiimu ky’erina emyaka kati ena,” Makumbi bwe yakakasizza.

Ono ye mutendesi ow’okuna okutendeka Kitara FC sizoni eno 2018/19 oluvannyuma lwa Paul Ssekitto, Paul Kawalya ne Edward Golola okugyabulira.

Kitara FC abaamalira ku mutendera gwa “Play offs” sizoni ewedde, bali mu kifo kya 5 n’obubonero 18 mu kibinja kya Rwenzori ekikulembeddwa Proline(23).

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Segawa1 220x290

Ssegawa gwe yalonda mu bakazi 50...

OMUYIMBI Vincent Ssegawa atabuse n’omukazi gwe yakozesa yintavuyu n’asinga abalala 50 mwe yamulonda.

Abamerika bakubye Trump mu mbuga...

ABAKULEMBEZE b’amasaza g’America 16 bawawaabidde Pulezidenti Donald Trump nga bamulumiriza okwagala okukozesa obubi...

Wana 220x290

Muto wa Ssemwanga, abadde amansa...

BAAMUTADDE ku mpingu ne bamuggyamu n’engatto, nga toyinza kulowooza nti y’oli abadde amansa ssente mu bbaala z’omu...

Kola 220x290

Ensonga ezaaviiriddeko Muhangi...

HERBERT Muhangi eyali owa Flying Squad yabadde yaakayimbulwa ku kakalu ka kkooti, abaserikale ne baddamu ne bamuyoola...

Kwata 220x290

Bannayuganda e London bajjukidde...

OMUSUMBA wa Kasana Luweero Paul Ssemwogerere akulembeddemu Bannayuganda abali e London mu Bungereza okujaguza emyaka...